Amawulire

Abazigu batemyetemye omuvubuka mu bukambwe omulambo ne bagusuula mu kibira

Omulambo ogubadde gubunye ebiwundu eby’amaanyi, bagusudde mu kibira kya Doko forest mu Mbale Northern Division e Mbale .

Abazigu batemyetemye omuvubuka mu bukambwe omulambo ne bagusuula mu kibira
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abantu abatannamanyika bafumbiikirizza omuvubuka atemera mu myaka 20, ne bamutemaatema omulambo gwe ne bagusuula mu kibira kya kalittunsi.

Omulambo ogubadde gubunye ebiwundu eby’amaanyi, bagusudde mu kibira kya Doko forest mu Mbale Northern Division e Mbale .

Gulabiddwa abatuuze abatemezza ku ssentebe wa LC1 mu kitundu, ekyo, Muzamiru Wandera naye ayise poliisi ne gutwalibwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mbale okwekebejjebwa.

Omwogezi wa poliisi e Mbale Rogers Taitika, ategeezezza nti, omuyiggo gw'abatemu gugenda mu maaso era nga n'omugenzi, tannategeerekeka, bimukwatako.

Tags:
Kitalo
Mbale
Bazigu
Kutemaatema
Muvubuka