PULEZIDENTI Yoweri Museveni avuddeyo ku lutalo olugenda mu maaso mu mawanga agali mu kyondo kya Buwalabu wakati wa America, Yisirayiri ne Iran n’ategeeza nga bwe lwesigamiziddwa ku bunyoomi n’okwegulumiza.
Museveni bino yabyogeredde ku mukolo ogw’okusiibulula Abasiraamu mu maka gw’Obwa pulezidenti e Ntebe ku Lwokuna. ‘’Ebigenda mu maaso mu kyondo kya Buwarabu tuzze tubyogerako n’abakulembeze b’amawanga gano wabula ekizibu kyonna kiva ku kwetenda eryanyi nga buli ggwanga lyeyita ery’ekitalo ku linnaalyo ekivuddeko obuzibu obuliwo,’’ Museveni bwe yategeezezza.

Pulezidenti Museveni Wakati N’abamu Ku Baabadde Mu Kusiibulula Abasiraamu.
Abatunuulizi b’ensonga okulwanagana okugenda mu maaso wakati wa Iran ne Yisirayiri bagamba nti kuva ku butakkaanya wakati wa Yisirayiri ne Palestine olw’abasookawo okulengezza abaabaddira mu bigere.
Museveni yagambye nti mu nsinsikano eyasembayo ne katikkiro wa Yisirayiri, Benjamin Netanyahu yamusaba okutabagana ne Iran ne Palestine. ‘’Netanyahu mukwano gwange, tusisinkanye enfunda eziwera wano.
Nga twasembayo okusisinkana wano ne Pulezidenti wa Sudan ne tumusaba okussa okukozesa omukisa guno okutabagana n’amawanga gano okusobola okumalawo obutakkaanya wakati we ne Yisirayiri ne Palestine,” bwe yagambye.
Yagambye nti okwetongola kwa Yisirayiri ne Palestine Liberation Organisation (PLO) kwakkaanyizibwako mu ndagaano ya 1993, wabula n’okutuusa leero Yisirayiri ekyakisimbidde ekkuuli.
Museveni nga ye ssentebe w’ekibiina omwegatira amawanga agatalina kyekubiirira (Non- Allied Movement) Uganda ne Iran mwe zigwa yakinogaanyizza nti mu nsinsikano ezaayita n’abakulembeze ba Iran yayagala okumanya lwaki tebassa kitiibwa mu Yisirayiri.
‘’Banziramu nti, tegwa mu mawanga ga kyondo kya Buwalabu kyokka nze ne mbateegeza nga Yisirayiri bw’eri ekitundu ky’ensi eyogerwako ne mu Bayibuli. Omubaka wa Iran mu Uganda, Majid Saffar y’omu ku beetabye ku mukolo guno ng’eyabadde kalabaalaba w’omukolo, Hajjati Sarah Kanyike olwamwanjudde ne bamukubira emizira egy’amaanyi.
Yisirayiri egenze okwegatta ku America okulumba Iran nga Netanyahu yaakagenyiwalako mu Uganda emirundi ebiri mu Febuary wa 2022 ne July wa 2016. Bapulezidenti ba Iran abasatu abaakyalirako Museveni okuli; Hashemi-Rafsanjani eyajja mu September 1996, Dr. Muhmoud Ahamadinejad April 2010 ne Ebrahim Raisi mu May 2024.
Ng’ayogera ku bigenda mu maaso mu kyondo kya Buwarabu Museveni yasiimye Bannayuganda olw’obutalaga ludda ku bigenda mu maaso n’obutasosola muntu yenna olw’ekikula kye n’eggwanga.
Bannabyabufuzi abeetabye ku mukolo guno kwabaddeko omubaka wa Mawokota South Yusuf Nsibambi, Latif Ssebaggala ne Farouk Ntege. Abasiraamu baakulembeddwaamu Mufti wa Uganda, Ramathan Mubajje n’abakulembeze ab’oku ntikko okuva ku kitebe kya Uganda Supreme Council.
Mubajje yeebazizza Museveni olw’okukuuma ennono y’okyusiibulula Abasiraamu buli mwaka kye yagambye nti kyongedde okunyweza obumu mu Busiraamu. Mubajje era yatenderezza Museveni olw’okuteeka obuwumbi 20.
mu SACCO y’abakyala Abasiraamu eya Muslim Women’s Saving and Credit Co-operative Society (SACCOS), n’akakasa nga bwe bamaze okwekenneenya emitendera gyonna okutongoza SACCO ya BaImam baleme kusigalira mabega.
Mubajje era yazzeemu okusaba pulezidenti Museveni okwongera okugabanyiza Abasiraamu ku keeki y’eggwanga ng’abalonda mu bifo eby’enkizo.
Yamusabye n’okuyimbula abasibe bonna abaakwatiibwa ku misango gy’ebyobufuzi n’agamba nti abasinga obungi bavubuka abaawubisibwa. Yeebazizza Museveni olw’okutongoza enkola ya banka y’Obusiraamu (Islamic Banking)
n’okuwa Abasiraamu omwagaanya okwenyigira obutereevu mu nkulaakulana y’eggwanga.