ABAYIZI 43 abaakomezeddwaawo mu ggwanga okuva e Iran balombozze obunkenke bwe baayiseemu okutuuka e Ntebe ku butaka.
Abayizi bano baatuuse ku kisaawe e Ntebe ku Lwokuna ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi nga bajjidde mu nnyonyi ya Ethiopian Airlines.
Omubaka wa Uganda mu Iran, Twaha Matata y’omu ku baabayambyeko okukwataganya Gavumenti ya Uganda okubafunira entambula eyabatuusizza kuno. Bwe baatuuse ku kisaawe baategeezezza nti baliko bannaabwe 8 abaasigaddeyo.
Baategeezezza nti embeera e Iran yabadde ya bunkenke olw’ebikompola ebibadde bikubwa awatali kusiriikirizaamu era babadde batambulira mu kufa.
Sarah Mayanja, ng’abadde asoma Bachelors in Architectural Engineering mu mwaka ogwokubiri agambye nti ku Lwomukaaga baali beetegeka okugenda mu kibiina ne bawulira ebikompola n’amasasi kwe kwesibira mu bisulo.
Bwe byasiriikirira kwe kutuukirira ambasada Twaha Matata ne bamusaba okubayamba okukomawo mu Uganda ekintu kye yatandika okukolako.
Matata yakwatagana n’ekitebe kya Uganda e Turkey n’abakungu abalala naye nti olugendo lwali luwanvu ate nga si lwangu kubanga baasigala bawulira ebikompola n’amasasi okutuuka ku nsalo ya Turkey nga kyabatwalira essaawa 17.
Oscar Nyejema ng’asoma Computer Engineering yagambye nti babadde bawulira emizinga, amasasi ssaako ettaka okukankana ekibadde kibateeka mu kutya nga bamanyi essaawa yonna bayinza okufuna obuzibu.
Yagambye nti ebikompola bibadde bigwa okumpi ne we babadde babeera era Katonda yazzizza bibye.
Yagambye nti babadde balaba ebizimbe ebikubwa bbomu ne bigwira abantu ne bafa. Alexandria Wampamba yategezeeza nti zaali ssaawa 3:00 ku makya, ne bafuna amawulire nti ekibuga Tehran kikubiddwa bbomu, ne babagamba okufuluma ebibiina bagende gye basula.
Bwe baatuuka ne basiba ebintu byabwe ne babategeeza nti omubaka wa Uganda mu Iran, Matata akubye essimu n’abalagira okwanguwa bagende ku nsalo ne Turkey era baalinnya bbaasi okutuukayo.
Mu kutambula baasanga abaserikale mu nguudo n’emisanvu nga babakebera okukakasa nti bannansi ba Uganda. E Turkey, baatuukayo ku Ssande. Baatuukira mu kibuga Ankara gye baava ne bavuga okutuuka mu kibuga ekikulu Istanbul naye ng’obunnyogovu bungi. Eno gye baavudde okukomawo kuno.