OLUKUNGAANA lw'enjiri olwa mantle of Deborah lukomyewo omwaka guno era nga lwa kubeera ku Hotel Africana ku lwomukaaga nga 7 March 2026 .
Olukungaana luno nga lwanjudwa apostle Isi Igenegba okuva mu Nigeria n'omusumba Irene Kawuma mu lukungaana lw’abannamawulire olutegekeddwa ku hotel Africana mu kifo kyekimu awagenda okubeera n’olukungaana lwennyini ku lwomukaaga .
Apostle Isi agambye nti olukungaana luno lwa mulundi gwa kusatu nga si lwa bakyala bokka wabula n’abaami basabibwa okujja okulwetabamu kuba mu baibuli Deborah naye yakola ne Barak okutuuka ku buwanguzi nga yensonga lwaki n’olukungaana lw’enjiri luno yalutuuma mantle of Deborah .
Olwokuba olukungaana luno lutegekeddwa mu mwezi gwabakyala ,Omusumba Irene Kawuma yatenderezza gavumenti ya Uganda olw’obuwagizi bwewa abakyala . Anokoddeyo ku bimu ku bikyasoomooza abakyala mu ggwanga omuli obutabanguko mu maka , obuwangwa okwenyooma n’ebirala nategeeza nti olukungaana lw’enjiri luno lwa kukwata ku mitima gy’abantu bangi okusobola okubigonjoola .
Oluvanyuma apostle Isi ng’awerekeddwako ekitongole ki one million women bagenzeeko mu maka gaba mulekwa aga UWESO e Masuulita okukyalira ku baana abagabeeramu era ne babetikkira ku bimu ku by’okukozesa , ebyokulya n’ebyokunywa .
Akulira UWESO Jolly Kaguhangire yebazizza apostle Isi nabamuwerekeddeko olw’okubadduukirira nasaba n’abazira kisa abalala okudduukirira abaana nga bano abalina obwetaavu