ABATWAALA essomero lya Buwambo C.u bawanjagidde gavumenti ebadduukiriire ne bikozesebwa ebyenjawulo omuli okubazimbira ebibiina ebiwerako,okubawa entebe ne birala kuba essomero lilina abayizi bangi nga n'abamu tebakyalina wakutuula.
Bino byayogeddwa Justine Bulyaba akulira essomero lino mu nsisinkano ne RDC Wa Nansana Charles Lwanga eyabadde mu kaweefube w’okulondoola pulojekiti za gavumenti omuli amasomero na malwaliiro nga wano Bulyaba weyategeerezza nga bwebalina abayizi abasoba mu 800 wabula nga ebikozesebwa tebibamala ne basaba baddukirirwe.

RDC ng'ali ne OC wa Poliisi ye Buwambo
RDC Lwanga weyategerezza nga gavumenti bwegenda okulaba nga ezimbira essomero lino ebibiina n’okutuusa empereeza esaanidde okulaba nga omwana w’eggwanga afuna okubangulwa okutuka n’omutindo.
Lwanga era yakuutidde abayizi okwerinda agasajja ga ssedduvvutto n’abantu abemitima emibi abalimba abayizi ne babazza mu bikolwa by’omukwano nga bakozesa obulabo n’ensimbi nabalabula okuloopa abantu bano kuba baviriddeko bangi okulemwa emisono.
Yabajjukizza n’obukulu bw’okunyikizza omwoyo gwe ggwanga nga bakulembeeze okwagala ensi yabwe saako okwewala ebikolwa by’obumenyi bwa mateeka babeera abantu ab’omugaso .

RDC ng'ali n'abaana abasomero mu ssomero lya Buwambo C/U
Lwanga yasoose kulambula mulimu gw’okuzimba e Kizimbe kye ddwaliro lya Matugga ekiwemeense obuwumbi bwa ssente nakowoola abatuuze okwetanira amalwaliiro ga gavumenti kuba gabeera na basawo era nga obujjanjabi bwa bwerere nawera okuggalira yenna abasaba ssente okuganyulwa mu pulojekiti za gavumenti n’empereza kuba buli kimu kyabwerere.