Amawulire

Poliisi ezudde pikipiki 6 ezigambibwa okukozesebwa ababbi okutigomya ab'omu Kampala

PIKIPIKI 6 ezigambibwa okuba ng'ababbi baludde nga bazeeyambisa okutigomya abantu mu Kampala, Mukono ne Wakiso, zizuuliddwa mu kikwekweto ekikoleddwa mu kiro ekikeesezza leero.

Poliisi ezudde pikipiki 6 ezigambibwa okukozesebwa ababbi okutigomya ab'omu Kampala
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

PIKIPIKI 6 ezigambibwa okuba ng'ababbi baludde nga bazeeyambisa okutigomya abantu mu Kampala, Mukono ne Wakiso, zizuuliddwa mu kikwekweto ekikoleddwa mu kiro ekikeesezza leero.

Mu kikwekweto kino ekikoleddwa e Mukono , Mbalwa, Namugongo,Salaama rd Kisangaani, Mukwano n'ebitundu ebirala, era bayodde 90 ne babaggalira.

Pikipiki zino ezisuubirwa okuba enzibe n'ezimu tekuli nnamba ate ng'endala, bazivuga ennamba bagibibinazza n'abalala okuzikyusakyusa, bazikwatidde Mukono n'abantu 9.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala , Recheal Kawala, agambye nti ebikwekweto ebirala, bikoleddwa e Ntebe Nakawuka nga bafunyeyo 14, ku lw'e Salaama bakutteyo 64.

Tags:
Poliisi
Kukwata
Babbi
Kutigomya