Amawulire

Gwebavunaanye okukukusa omwana gamumyukidde mu kkooti

OMUYAMBI we kitiongole ekitwala bannamateeka ki Uganda Law Society gamumyukidde  mu kkooti bwebamuguddeko omusango gw'okukusa omwana wemyaka 10.

Fatumah Namukasa ng'ali mu kaguli
By: Harriet Nakalema, Journalists @New Vision
OMUYAMBI we kitongole ekitwala bannamateeka ki Uganda Law Society gamumyukidde  mu kkooti bwebamuguddeko omusango gw'okukusa omwana wemyaka 10.
 
Fatumah Namukasa eyakazibwako erya Hajjat 32 omutuuze we Ntinda Kigoowa mu divizoni ye Nakawa mu disitulikiti ye Wakiso nga ono akola gyanakyewa ku kitebe ekitwala bannamateeka yaguddwako omusangoa ogw'okukusa omwana n'ekigendererwa ekokumukozesa emirimu gye waka mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda road Ritah Neumbe Kidasa.
 
Oludda oluwabi nga lukulembeddwamu omuwabi wa gavumenti mu musango guno Grace Amy lwategeezezza kkooti Namukasa nabalala abatannakwatibwa mu August wa 2024 ne February wa 2026 ku kyalo Kigowa mu Kampala nga bakozesa ebifo byebalina nolukujjukujju nga mukozesa obuteesobola bwomwana owemyaka 10 n'ekigendererwa ekyokumufuula omuyambi we waka.
 
Omwana baamutambuza okuva mu bitundu bye Nebbi era nga Namukasa yamunona ku Arua Park namutwala ewaka we okutandiika okumukolera emirimu gyawaka.
 
Oluvannyuma lwokumuteek awaka yatandika okumutulugunya era muzirakisa y agenda ku poliisi nawaba omusango okukakkana nga anunuddwa natwalibwa ku poliisi ye Kira gyekakolera sitatimenti nti ddala kituufu abadde atulugunyizibwa.
 
Namukasa yakwatibwa era naggulwako ogwokukusa omwana n'ekigendererwa ekyokumutulugunya era omusango yagukkirizza nti yaguzza wabula nategeeza kkooti nga bweyali akikola okumulabirirs nga teyali wakumusasula ssente zabukozi.
 
Omulamuzi Kidasa yamutegeezezza nti engeri omusango gweyazza bweguli muzito wakusalirwa ekibonerezo wakati nga alina munnamateka gavumenti gwenabeera emuwade.Omusango gwakuddamu okuwulirwa nga March 9,2026