ABEEGATTIRA mu bibiina by’obwegassi basabiddwa bulijjo okwongera amaanyi ku mbalirira y’ebitabo, okukendeeza ku bumulumulu obuyinza okuviirako ebibiina bino okugwa.
Obubaka buno buweereddwa omukwanaganya w’ebibiina by’obwegassi eby’Obukatoliki mu Ssaza Ekkulu ery’e Kampala, Allan James Yiga mu ttabamiruka w’ekibiina ky’obwegassi ekya Kigoowa Co-Operative Savings and Credit Society Limited e Ntinda.
Yiga yategeezezza nti, ekisuula amangu ebibiina ebimu, kwe kulagajjalira okubala obulungi ebitabo, ekivaamu ensobi okuyitirira nga kino kigoba bammemba gye biggweerang’ekibiina kigudde.
Akuutidde abeewola okwekubiriza bazzeeyo mangu ssente zino zigase n’abalala.
Ssentebe w’ekibiina kino, Richard Kaggwa yategeezezza nti, eno y’ensisinkano yaabwe ey’omwenda n’agamba nti, buli kimu kitambula bulungi. Yagambye nti, ekibiina kyabwe kikuze kuba buli mwaka kyeyongeramu bammemba nga ku luno baafunye abalala 120, olwo ne bawera 2,200.
Akulira akakiiko k’okubangula bammemba mu kibiina kino, Lawrence Kalanzi yategeezezza nti, ekibiina kino kimazeewo endooliito ezaavanga ku bammanerenda n’akuutira bammemba okukulembeza obwesige kubanga y’empagi okuyimiridde enkulaakulana y’ekibiina