Amawulire

Ettemu lyewanisizza ab’e Mbarara emitima

ABATUUZE mu kibuga Mbarara bali mu bweraliikirivu olw’ettemu erisitudde enkundi ennaku zino, nga kati abantu babiri be baakakwatibwa mu bbanga lya wiiki bbiri.

Abamu ku basajja abaakwatiddwa ku ttemu ly’e Mbarara.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABATUUZE mu kibuga Mbarara bali mu bweraliikirivu olw’ettemu erisitudde enkundi ennaku zino, nga kati abantu babiri be baakakwatibwa mu bbanga lya wiiki bbiri.
Ettemu lino liri mu byalo ebikola omuluka gw’e Nyamitanda mu divizoni ya Mbarara City South. Mu kiro ekyakeesezza ku Ssande, omuvubuka eyategeerekeseeko erya Abaho nga nzaalwa y’e Ntugamo yattiddwa mu bukambwe, ng’omulambo gwe gwasangiddwaako ebiwundu by’ebijambiya. Abaho abadde akola gwa kwokya madirisa.
Okusinziira ku batuuze abaatuuseeko mu kifo awaasangiddwa omulambo, embeera eyabaddewo eraga nti, waabaddewo ensiitaano ey’amaanyi wakati w’omugenzi n’abatemu. Ku mutwe ne ku mugongo gw’omugenzi kwasangiddwaako ebiwundu by’ejjambiya eby’amaanyi. Poliisi yaleese embwa ezikonga olusu, ne ziggukira ku bavubuka abamu, era poliisi n’ebaggalira ng’okunoonyereza bwe kugenda maaso.
Omuwandiisi ku kyalo ky’e Kitebero, Isaac Lubega ettemu lino yalitadde ku bannannyini mayumba abatafaayo kumanya bintu bikwata ku bapangisa baabwe ekivuddeko abamenyi b’amateeka okusenga mu kitundu kino mu bungi.
Abatuuze be twayogeddeko nabo nga baakulembeddwa Ssentebe w’omuluka gw’e Nyamitanda Adam Mugisha, baagambye nti, n’obumenyi bw’amateeka obulala bungi, omuli obubbi obulimu okukuba ppeeva, okukwata obubadiya n’ebirala, nga bivudde ku bbaala ezeeyongedde mu kitundu, obwamalaaya, ebibanda bya ffirimu, n’okufuuweeta ebiragalalagala