Amawulire

Basabye KCCA ku bisolo ebitaayaaya

ABASUUBUZI n’abatuuze basabye KCCA okubataasa ku bisolo ebitaayaaya mu Kawempe bye balumiriza okuvaako obubenje n’okwonoona ebintu byabwe.

Ente ku nkulungo y’oku Kaleerwe.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABASUUBUZI n’abatuuze basabye KCCA okubataasa ku bisolo ebitaayaaya mu Kawempe bye balumiriza okuvaako obubenje n’okwonoona ebintu byabwe.
Bagamba nti, ebisolo bino bimanyi n’okuyimirira ku kkubo ne birinda ebidduka okuyitawo ne bisala okwefaanaanyirizaako abantu! Ebisolo omuli ente, embuzi n’endiga obisanga mu butale, ku nguudo ng’abatuuze bagamba baludde nga beekubira enduulu ku nsonga eno kyokka KCCA bw’ebiyoola wayita ennaku ntono nga bikomyewo.
Mmeeya w’e Kawempe, Emmanuel Sserunjogi yalabudde bannannyini bisolo nti, tebalina kubita kutaayaaya.
N’agamba nti, ebisolo by’abajeemera amateeka bizze bikwatibwa ne bitundibwa ssente ezivaamu ne ziddaabiriza ebiba byonooneddwa.
Ddereeva wa loole, John Kiweewa yagambye nti, omwezi oguwedde ng’ava e Kayunga, bwe yatuuka e Mpereerwe ku ssaawa 8:00 ez’ekiro yeekanga embuzi, endiga n’ente nga byebase mu luguudo! Yagambye nti, ekyamuyamba, ekkubo temwali mmotoka era ebisolo yabiwugula n’awona akabenje akandimulesezza obuwoomi bw’ettooke.
Ate Juliet Nakakawa, omusuubuzi mu Kirokole yagambye nti, ebisolo bagobagana nabyo okubitangira okubaliira emmere gye batunda ng’abamu bazze bakola loosi kyokka bwe beemulugunya babagamba nti ebisolo bya banene mu kitundu.
Omwogezi wa KCCA, Daniel NuweAbine yategeezezza nti ebikwekweto eby’okuyoola ebisolo bigenda mu maaso n’asaba abalundira mu kibuga okufuna ebifo we babiteeka kuba ebinaasangibwa nga bitaayaaya bijja kutwalibwa