Ssabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paul Ssemogerere asiimye ab’ennyumba y;omugenzi Amir Ssekikubo olw’okukuuma omukwano n’enkolagana y’Abasiraamu n’Abakatoliki, jjajjaabwe oyo gyeyateekawo bweyabudamya mumakaage ag’e Kitebi abaminsane ababereberye, Fr. Simeon Lourdel Mapeera ne Bro. Delmas Amans, ate oluvannyuma n’abakolera entegeka okulaba Ssekabaka Muteesa I mulubiri lwe e Lubaga, gyebaafunira olukusa okuyigiriza Eddiini Katolika mu Buganda.
Paul Ssemogerere ng'ali ne bannaddiini abalala
Ssabasumba okusiima kuno y’akukoledde ku Klezia y’ekisomesq ky’e Kitebi eyabbulwamu Fr. Mapeera, gyeyakulembereredde ekitambiro kya mmisa ey’okujjukira emyaka 147 bukya Ssekikubo asisinkana era n’asuza abaminsane bano. Amir Ssekikubo yali mwami wa Kabaka, eyali avunaanyizibwa ku ntambulaze, okusinziira ku muzzukulu we Nusura Namutebi.
Omukolo gw’okujjukira ensisinkanoye n’abaminsane Abakatoliki gwabaddewo ku Ssande nga February 22.
Ssabasumba y’asiimye Amir Ssekikubo olw’obuyambi bweyawa abaminsane, era neyeebaza mutabaniwe, omugenzi Musa Kaggwa olw’okutwala mu maaso omukwano guno, n’atuuka nokusala puloti ku ttaka lya kitaawe, n’ajiwa Klezia era nga kwekwazimbibwa klezia y’ekijjukizo kua Mapeera.

Ssaabasumba Ssemogerere ng'awayaamu ne Min. JC Muyingo
Mumukolo guno, bazzukulu ba Amir Ssekikubo ngabakulembeddwamu Nusura Namutebi baawadde Ssabasumba obweyamo ngabwebajja okusigala ngabatambulira wamu nabakulembeze ba Klezia e Lubaga, era nebamukwasa ekiwandiiko ekikakasa obwannanyini famire bweyawa Klezia kuttaka eririko klezia ya Mapeera.
Kumukolo guno gwegumu, Ssabasumba Paulo Ssemogerere y’atongozza kaweefube w’okusonda ensimbi z’okuzimba mu kifo kino klezia empya, era ey’omulembe.
Obukadde bw’ensimbi za Uganda 11 bwebwasondeddwa mu buliwo nemubisuubizo. Abamu ku baasonze kwabaddeko minista omubeezi ow’ebyenjigiriza ebyawagulu, Dr. John Chrysostom Muyingo, Ssentebe wa Gombolola y’e Lubaga Zacchy Mberaze, omubaka omulonde owa Lubaga South Hon. Eugenia Nassolo, n’abalala bangi.

Ssaabasumba Paul Ssemogerere ng'ayogera
Obabaka b’Ekisiibo
Ssabasumba Paulo Ssemogerere y’asinzidde kumukolo guno n’asaba Abakristu n’Abasiraamu okweyambiza obudde bw’Ekisiibo bonna bwebalimu, okutereeza enkolagana yaabwe ke Katonda, n’okunyweza empisa ennungi ey’okwagalana, okusosonyiwagana, n’okutabagana nebannaabwe.
Yagambye nti oluvannyuma lwebyaliwo mukulonda, ebyaviiramu abantu bangi okulumizibwa, okusibibwa mu makomera, ate n’abamu okuttibwa, ky’abadde kissaanye era nga nokuteekwa kiteekwa Bannauganda okwekuba mukifuba, bawulirize era bakole Katonda ky’abagamba okukola, ate era ggwe wamma batabagane, eggwanga liddemu okuitambula obulungi