Amawulire

Kaliisoliiso wa Gav't alangiridde ebikwekweto ku bali b'engzi okutandika nga 1 ogw'okuna

KALIISOLIISO wa Gavumenti ayanjudde enteekateeka y'ebikwekweto okulondoola eby’obugaga by’abakozi ba gavumenti mu mirimu egyenjawulo okusingiraddala abo abatanewandiisa mu mwezi gwa April 1st mpaka nga 30th.

Kaliisoliiso wa Gav't Luzze Aisha ng'ayogera ku bikwekweto
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Frank Ssentongo 

KALIISOLIISO wa Gavumenti ayanjudde enteekateeka y'ebikwekweto okulondoola eby’obugaga by’abakozi ba gavumenti mu mirimu egyenjawulo okusingiraddala abo abatanewandiisa mu mwezi gwa April 1st mpaka nga 30th.

“Ngatuyambibwako aba Police n’ebitongole ebirala; wofiisi ya kaliisoliiso wa gavumenti tugenda kukola ekikwekweto bino okwetolola eggwanga lyonna.

Minisita aweze okusimba mu mbuga z’amateeka omuntu yenna anasangibwa nga yakozesa bubi ensimbi z’omuwi w’omusolo okwekussa.. Asabye abakozi ba gavumenti mu office ez’enjawulo okwetanira ekikwekweto kino; Okusingira ddala abo abatenewandiisa.