Amawulire

Abasomesa abasukkulumye ku bannaabwe basiimiddwa ku 'State House' e Ntebbe

MINISITA w’ebyenjigiriza mu ggwanga era muk’omukulembeze w’eggwanga, minisita Janet Kataha Museveni, akwasizza abasomesa abasukkulumye ku balala ab’omwaka 2025, engule (Teachers Making a Difference) ku mukolo ogwategekeddwa mu maka gw’obwapulezidenti e Ntebe.

Abasomesa abasukkulumye ku bannaabwe basiimiddwa ku 'State House' e Ntebbe
By: Ponsiano Nsimbi, Journalists @New Vision

MINISITA w’ebyenjigiriza mu ggwanga era muk’omukulembeze w’eggwanga, minisita Janet Kataha Museveni, akwasizza abasomesa abasukkulumye ku balala ab’omwaka 2025, engule (Teachers Making a Difference) ku mukolo ogwategekeddwa mu maka gw’obwapulezidenti e Ntebe.

Minisita Kataaha y'abadde omugenyi omukulu.

Minisita Kataaha y'abadde omugenyi omukulu.

Omukolo guno gwetabiddwako n’abawanguzi b’empaka zino ab’emyaka egyayita nga basatu ku bano basiimiddwa mu ngeri ey’enjawulo olw’okuwagira enteekateeka eno.

Wakati wa June ne September w’omwaka guno Olupapula lwa Newvision lwasunsula abasomesa 70, okuva mu masomero ag’enjawulo mu ggwanga mu nteekateeka eno eyatandikibwawo mu April wa 2008.

Abamu ku basomesa ababadde e Ntebe ku State House be baayise okusiimibwa

Abamu ku basomesa ababadde e Ntebe ku State House be baayise okusiimibwa

Pulojekiti eno esiima abasomesa ab’enkizo abakola ebintu ebitali bya bulijjo nga beeyambisa ebintu ebibeetoolodde.

Avunaanyizibwa ku pulojekiti ez’enjawulo ku kkampuni ya New Vision Sydney Miria yagambye nti abawanguzi ku birabo ebibasiima bagenda bagattirako olugendo lw’okugenda mu ggwanga lya Ireland okwongera okulaba n’okuyiga engeri abasomesa baayo gye bakolamu emirimu gyabwe.

Akulira Vision Group, Don Wannyama ng'ayogera.

Akulira Vision Group, Don Wannyama ng'ayogera.

New vision ng’eriwamu n’ebitongole ebirala esobodde okusiima abasomesa abasoba mu 1,000 bukya nteekateeka eno etandikibwawo ng’eyambibwako ekitebe kya Irelanda mu Uganda, Trocaire,Irish charity Travelcare  ng’eno kkampuni ekola ku bya kusaaabaza bantu.

Okusinziira Newvision abavujjirizi b’enteekateeka eno bongedde ebbugumu mu mpaka zino. We lutuukiddde olwaleero ng’abasomesa 96, be baakasiimibwa mu ngeri ez’enjawulo nga 53, ku bo basobodde okuyambibwako ofiisi ya maama Janet okweyongerayo  n’emisomo gyabwe.

Minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza bya Pulayimale, Dr. Joyce Morik Kaducu ng'agabira omusomesa satifikeeti.

Minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza bya Pulayimale, Dr. Joyce Morik Kaducu ng'agabira omusomesa satifikeeti.

Omukolo gwetabiddwako abakungu ab’enjawulo okuli baminisita b’ebyenjigiriza ,akulira kkampuni ya Vision Group Don Wanyama n’abakungu abalala.

Tags:
Jannet Kataha Museveni
Best Teacher
Kusiima