Omukulu w’essomero aliira ku nsiko lwa kufunyisa wa P7 lubuto
Oct 12, 2023
Omukulu w’essomero lya Grace Day Care Orphanage and Primary School aliira ku nsiko oluvannyuma lw’okusobya ku muyizi we owa P.7 n’amufunyisa olubuto.

NewVision Reporter
@NewVision
Omukulu w’essomero lya Grace Day Care Orphanage and Primary School aliira ku nsiko oluvannyuma lw’okusobya ku muyizi we owa P.7 n’amufunyisa olubuto.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango ategeezezza nti Jolly Joe Otim ye mukulu w’essomero eyasobodde okwemulula n’adduka ng’entabwe eva ku kusobya ku muyizi we ow’emyaka 14 asoma P.7.
Onyango ategeezezza nti bino byaliwo mu mwezi gwa August 2023 mu luwummula, Otim bwe yatumya omuwala ono mu kibiina n’agenda mu nnyumba ye ku ssomero n’amuggaliraro n’amweggwera.
Bino byali ku kyalo Busenya ekisangibwa mu Nakifuma-Naggalama TC mu disitulikiti y’e Mukono.
“Mu mwezi gwa September 2023, Otim yawa omuwala enkumi ttaano n’amulagira agende mu kalwaliro bamukebere ng’era eno gye yakizuulira nga bwe yali yafuna olubuto, amawulire naye ge yategeeza omukulu w’essomero Otim,” Onyango bwe yategeezezza.
Ono yagasseeko nti nga September 30, 2023, Otim yaddamu n’awa omuwala ono n’omu ku basomesa emitwalo mukaaga ne bagenda mu kalwaliro baggyemu olubuto wabula nga kino ow’akalwaliro yagaana okukikola n’ategeeza ku nnanyini ssomero ne bazadde b’omwana.
Mu kiseera kino poliisi egamba nti omukulu w’essomero Otim n’omusomesa eyali atutte omwana ku ssomero baliira ku nsiko.
Mu mbeera y’emu, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nga poliisi bwe yakutte omusajja agambibwa okusobya ku baana abalongo ab’emyaka omusanvu.
Enanga agamba nti Cryton Amanya atemera mu gy’obukulu 18 y’atemeza emabega w’emitayimbwa ng’entabwe eva ku kusobya ku baana abalongo. Amanya mutuuze ku kyalo Buhuma Cell mu divizoni y’e Ishaka mu disitulikiti y’e Bushenyi.
Poliisi yategeezezza nti abalongo bano baagwa ku kyokya nga October 4, 2023 ku ssawa 12:00 ez’olw’eggulo Amanya bwe yabakkakanako n’abasobyako.
Omu ku balongo bano Enanga agamba nti ye yadduka nnyina gy’akolera ogw’okutunda mu dduuka n’amutegeeza nga Amanya bwe yali abasobyako.
Mbu ne maama w’abaana bano yazambalira ku mugongo nga nswa n’adda ewaka gye yasanga Amanya ng’ali ku mulongo we amumalirako ejjakirizi.
“Maama ono yatemya ku ssentebe w’ekyalo eyakwata Amanya n’amukwasa poliisi. Mu kiseera kino omuyiggo gwa Otim gugenda mu maaso sso nga ye Amanya tumaliriza okukola okunoonyereza oluvannyuma waakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe,” bwe yategeezezza.
Yavumiridde abantu abakulu omuli n’abasomesa ssaako ab’oluganda abagufudde omugano okusobyanga ku baana be baweebwa okukuuma n’abasaba okukikomya bunnambiro.
No Comment