Katikkiro Mayiga ajaguzza emyaka 12 ku bwa Katikkiro
May 13, 2025
"Nga ntandika omwaka guno ogwe 13 nga nkuuma Ddamula, mbasaba tutambulire wamu tuwangane amagezi, tuyambagane, tube bumu, twebungulule Nnamulondo, tujja kusobola okuzza Buganda ku Ntikko. Ssabasajja Kabaka Wangaala."

NewVision Reporter
@NewVision
"Nga ntandika omwaka guno ogwe 13 nga nkuuma Ddamula, mbasaba tutambulire wamu tuwangane amagezi, tuyambagane, tube bumu, twebungulule Nnamulondo, tujja kusobola okuzza Buganda ku Ntikko. Ssabasajja Kabaka Wangaala."
Ebyo by'ebigambo Katikkiro Charles Peter Mayiga byeyafundikidde nabyo bweyabadde ayogerera ku mukolo gw'okujaguza nga bwegiweze emyaka 12 bukya Kabaka Mutebi II asiima n'amulangirira nga Katikkiro ow'okutaano ku mulembe gwe nga May 12,2013.
Ababaka ba Palamenti nga absitudde ebitabo Katikkiro Mayiga byeyawandiika
Omukolo guno gwabadde mu Maka ga Katikkiro wa Buganda amatongole agayitibwa Butikkiro agali e Mmengo mu Kampala olunaku lw'eggulo nga gaddamu okukozesebwa July 28,2018.
Omulabirizi we Namirembe, Moses Banja yeyasoose okuwaayo essaala bwatyo neyeebaza Katonda eyawa Kabaka okwolesebwa n'akwasa Mayiga Ddamula era n'amusaba agende mu maaso n'okumuwa amaanyi n'amagezi okutwala ensonga za Buganda mu maaso.
Abagenyi abeetabye ku mukolo guno baayitiddwa okuva mu biti eby'enjawulo ng'okuggyako Bannaddiini okuli Msgr. Charles Kasibante, Viika w'essaza ly'e Kampala, Viika w'Eklesia y'Abasodokisi, Rev. Fr. John Kibuuka Bbosa, Ddiini wa Lutikko Namirembe, kwabaddeko n'abasuubuzi abaakulembeddwamu Ssentebe wa Kwagalana Godfrey Kirumira, John Fred Kiyimba Freeman Ssentebe wa Buganda Twezimbe.
Katikkiro ng'ayambadde ekyambalo Kabaka mweyamuweera obwa Katikkiro
Ab'olulyo Olulangira bakikkiriddwa Nnaalinya Dorothy Nassolo, Olukiiko olukulembeze olw'Abataka nga lukulembeddwamu Omukubiriza w'Olukiiko lwaabwe Augustine Kizito Mutumba Namwama,Baminisita ba Kabaka baagubaddeko, Abamu ku Baami b'amasaza abaakulembeddwamu Omukubiriza w'Olukiiko lwaabwe, Omulangira Ronald Mulondo Kkangaawo, Abakulira ebitongole by'Obwakabaka saako ne Famire ye.
Mayiga yeebazizza Kabaka olw'okumubeera ebbanga lino lyonna kubanga yamugamba nti "Weetuli".
Amawulire g'okulondebwa kwe ku bukulu buno, Mayiga yagambye nti gaamusanga mu saluuni,omutunzi w'amawulire bweyali ayitawo n'amawulire ga Bukedde agaaliko omutwe nti 'Mayiga ye Katikkiro'.
" Lwali lunaku nga nteekateeka okugenda ku mukolo ogwali gutegekeddwa Omukungu Ono Godfrey Kirumira okukulisa Omulangira David Kintu Wasajja embaga gyeyali yakayitamu.
Naye oba Bukedde yabiggyawa ne bifulumya nga sinalangirirwa. Ndaba wano Dickson Kulumba omusasi waabwe kyokka mbeebaza kuba okuva ebbanga eryo tutambudde nabo," Mayiga bweyayogedde.
Abagengi ku mukolo gwa KAatikkiro nga balya ekimere
Ku mukolo guno,Mayiga eyabadde ne Mukyala we Margaret Mayiga baatongoza ekitabo ekiyitibwa KABAKA KU NNAMULONDO: Olugendo lw'okuzzaawo Obwakabaka bwa Buganda ekiwerako emiko 600 nga kigulibwa ku 100,000/-. Kirombojja kalonda yenna akwata ku kuddawo kw'Obwakabaka ekyatuukirira nga July 31,1993 n'okutikkirwa kwa Kabaka Mutebi II
Olugero lw'okuddawo kw'Obwakabaka,Mayiga yasooka kumuwandiika mu Lungereza mu kitabo kyeyatuuma "King On the Throne" ekya 2009.
Ebitabo ebirala Mayiga byeyakawandiika kuliko Buganda Ku Ntikko, Uganda: 7 Key Transformational Ideas, Work & Prosper, ne Ettoffaali.
Mulondo nga ye mwami w'essaza ly'e Bulemeezi yeyabadde Omwogezi w'olunaku yayiseyise mu byonna ebituukiddwako mu bbanga lino ery'emyaka 12.
Abamu ku bagagga Kwagalana nga batuuka ku mukolo
Mayiga yanokoddeyo okuyunga olutindo wakati w'obukulembeze bwe Mmengo ne Gavumenti eyawakati nga Kati Bannabyabufuzi beegazanyiza bulungi e Mmengo.
" Tukwebaza olw'okutukulembera obulungi, emikago mingi egikoleddwa okuli n'ogwa UNAIDS' nga Kabaka ye Ambasada w'okulwanyisa Mukenenya mu Africa, Ekitiibwa Kya Nnamulondo n'Obwakabaka mu Uganda eyawamu kyeyongedde,obumu mu bantu bweyongedde," Mulondo bweyayogedde ku bimu ku bituukiddwako.
Omuyimbi Hajj Haruna Mubiru yasanyusizza Abagenyi ba Katikkiro wamu n'abagoma aba Ssanyu Cultural Troupe saako abayizi ba Buddo SS abayimbye ennyimba eziwaana Mayiga ezamusizza enseko era oluvanyuma ne bagabulwa ekijjulo.
Katikkiro yatutte akadde ng'ateeka omukono mu bitabo ebyaguliddwa abeetabye ku mukolo guno.
No Comment