Agambibwa okukuba 'Registrar' mu kamyufu ka NRM e Bugweri akwatiddwa n'aggalirwa

OMU ku baabadde beesimbye ku kuvuganya mu kamyufu e Bugweri , Samuel Kakaire, akwatiddwa poliisi ku bigambibwa nti yakkakkanye ku Registrar n'amukuba mu kulonda.

Agambibwa okukuba 'Registrar' mu kamyufu ka NRM e Bugweri akwatiddwa n'aggalirwa
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Bugweri #Kukwatibwa #Kukuba

OMU ku baabadde beesimbye ku kuvuganya mu kamyufu e Bugweri , Samuel Kakaire, akwatiddwa poliisi ku bigambibwa nti yakkakkanye ku Registrar n'amukuba mu kulonda.

Bino bibadde ku Igombe Polling Station,  Kakaire gye bamulumiriza okukuba omuntu n'amulumya nga mu kiseera kino , akuumirwa ku poliisi e Bugweri ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Ate e Bugiri, poliisi ekutte abantu musanvu, abagambibwa okwenyigira mu kukola efujjo ku Higobero ne Nabijingo polling station oluvannyuma lw'abamu okwekandagga ne bagaana okulonda ekyavuddeko abavubuka okukola akavuyo.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kafayo, ategeezezza nga bwe baliko n'abantu abalala bana abaakwatiddwa ne babaggalira ku poliisi eyo ku mivuyo n'okulumya awamu n'okwonoona ebintu.