Poliisi etaddewo ekirabo kya bukadde 50 eri omuntu anaagiyamba okuloopa n'okukwata omutemu eyatta abafumbo ababiri e Ntebe.

By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Ntebe #Bukadde 50 #Kuloopa #Poliisi #Kuteekawo #Birabo

Poliisi etaddewo ekirabo kya bukadde 50 eri omuntu anaagiyamba okuloopa n'okukwata omutemu eyatta abafumbo ababiri e Ntebe.

Mu ngeri y'emu era, poliisi esaasaanyizza eddoboozi ly'omusajja agambibwa okuba omutemu bwe yali ayogerera awaka n'abagenzi mu kiseera ettemu we lyabeererawo.

Kiddiridde omutemu okufumita David Mutaaga ne mukyala we Deborah Florence Mutaaga ebiso ebyabatta bombi nga July 6 omwaka guno mu Kiwafu Nakiwogo e Ntebe.

Mu lukung’aana lwa poliisi e Naggulu, poliisi ezannyidde bannamawulire akatambi k'obulumbaganyi buno n'eddoboozi ery'obukambwe omutemu lye yakozesa mu kiseera ekyo.

Etaddewo ennamba y'essimu 0769675918 omuntu yenna alina amawulire agaakwata ku mutemu oyo kw'alina okukuba okuloopa.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti, bataddewo ekirabo kya bukadde 50 eri oyo yenna anaayamba okuzuula omutemu oyo.