MINISTULE y'ebyobulamu etongoza enkola y'obujjanjabi empya okusingira ddala eri abakyala b'embuto etuumiddwa ' Triple elimination '.
Mu nkola enkola abakyala bwe banaabera nga bagenze okunywa eddagala baggya kuggyibwangako omusaayi bakeberebwe endwadde za mirundi 3 okuli akawuka ka Mukenenye , Hepatitis B n'obulwadde bwa Syphilis.
Bino babyanjulidde bannamawulire mu lukungana lwe baatuziza ku ofiisi zaabwe mu Kampala.
Kominsona avunaanyizibwa ku by'obujjanjabi obusookerwako mu ministule y'ebyobulamu Dr. Ronnie Bahatungire yannyonyodde nti endwadde zino basazeewo bazikwatire wamu mu kuzijjanjaba olw'ensonga nti zibadde zikyali za mutawaana nnyo mu kutawaanya bamaama n'abaana abazaalibwa.
Yakkaatirizza nti teri mukyala wa lubuto ajja kukkirizibwa nga kuva mu ddwaliro nga tamaze kukeberebwa era anaazuulibwa nga mu endwadde ezo waakuweebwanga obujjanjabi ate anaabeera tabulina asomesebwe engeri y'okubwewalamu .
Abaana abaakazaalibwa baakuweebwanga ddoozi y'eddagala erigema ekirwadde kya Hepatitis B saako n'okugema okulala kwonna .
Bino webijjidde nga Uganda eri mu nteekateka ey'okutuuza olukung'aana ggaggadde olugenda okwetabwamu abakugu mu kujjanjaba endwadde z'ekika kino okuva munsi yonna. Luno lwakuyindira ku Speke Resort e Munyonyo okuva nga 21 okutuusa nga 23 July 2025.