Abakazi ab’embuto baakufuna ddoozi ya tetenaasi emu

RITAH Asiimwe ku myezi esatu n’ekitundu yatwala omwana we okugemebwa tetenaasi. Wabula era agamba nti, ng’akyali lubuto, ku myezi ena naye yakubwa akayiso ka tetenaasi mu ddwaaliro lya Komamboga Health Center e Kawempe. Naye abasawobaamugamba nti, alina okufuna obuyiso obulala butaano okusobola okumalayo ddoozi y’okwetangira akawuka kano.

Musawo Victoria Namirembe ng’agema omwana
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

RITAH Asiimwe ku myezi esatu n’ekitundu yatwala omwana we okugemebwa tetenaasi. Wabula era agamba nti, ng’akyali lubuto, ku myezi ena naye yakubwa akayiso ka tetenaasi mu ddwaaliro lya Komamboga Health Center e Kawempe. Naye abasawo
baamugamba nti, alina okufuna obuyiso obulala butaano okusobola okumalayo ddoozi y’okwetangira akawuka kano.
Victoria Namirembe, musawo muzaalisa era y’akulira eby’okugema ddwaaliro lya Kiganda Maternity Centre e Kawempe agamba nti, obuyiso obugema tetenaasi bulimu emirundi ebiri okuli; akagabirirwa abaana abato n’ak’abantu abakulu abali wakati w’emyaka 15 ne 45 nga gy’emyaka egizaala.
Wabula akayiso kano tekasosola musajja oba mukazi kubanga bonna tetenaasi
asbola okubakwata.
ENGERI Y’OKUGEMA OWOOLUBUTO
Namirembe agamba nti, omuntu omukulu alina okukubwa akayiso akagema tetenaasi emirundi etaano ddoozi okuggwaayo obulungi.
Agamba nti, omukyala lw’asoose okweyanjula mu ddwaaliro ku myezi ena, bamuwa akayiso akasookera ddala. Addamu okufuna akalala oluvannyuma lw’emyezi
ena ate oluvannyuma lw’emyezi mukaaga n’afuna ddoozi esembayo ku mwaka gumu OMWANA AGEMWA EMIRUNDI ESATU
Ate omwana azaaliddwa bamugema emirundi esatu ddoozi okuggwaayo.
Ddoozi eno erimu ebika by’eddagala ebiwera bitaano (5) omuli ebijjanjaba Diphtheria,
tetenaasi, Hepatitis B, Infl uenza ne Pertussis ng’empiso bagikuba ku kugulu okwa kkono.
Ddoozi esooka omwana omuwere agifuna ku mwezi gumu n’ekitundu, eddako ku myezi ebiri n’ekitundu n’esembayo ku myezi esatu n’ekitundu. Wabula bw’akula afuna
ddoozi y’omuntu omukulu etandikira ku myaka 15. Agamba nti, kirungi okubeera n’ekipalati ekiraga engeri gy’obadde ogemebwa okwewala okukuddi- ηηana

TETENAASI AKWATA DDI?

Dr. Nicholas Mugagga, omukugu mu kuzaalisa abakyala mu ddwaaliro lya
St. Joseph e Wakiso agamba nti, tetenaasi aleetebwa akawuka ka bakitiriya akayitibwa
‘Clostridium tetani’.
Akawuka kano toyinza kukalaba, bwe kayingira mu mubiri kagenda ku busimu
ne kayingizaamu obusagwa obuvaako emisuwa okwesika mu bulumi. Era afunye akawuka kano yeesika, akakanyala ensingo n’oluba okwesiba ekivaako okulemererwa okwasama n’okumira. Akawuka kanookafuna okuva ku bintu byonna
ebicaafu ebikuleeseeko obulabe naddala ebitalazze. Akawuka kano bwe kakuyingira mu mubiri kizibu okukalwanyisa okuwona era ossibwa ku kyuma  ekikuyamba okussa.
OKUNOONYEREZA KWA KUYAMBA MAAMA N’OMWANA ALI MUNDA Dr. Mugagga agamba nti, enkola empya etangira tetenaasi eri maama n’omwana ali munda kati ya kukuba owoolubuto akayiso ddoozi emu buli lw’afunye olubuto.