SSEKABAKA Namugala ye Kabaka wa Buganda owa 24 nga yasikira Muganda
we Ssekabaka Mwanga I era yakulembera Obuganda okuva mu mwaka gwa 1741 okutuuka mu 1750.
Bonna bano ng’ogasseeko ne Ssekabaka Kyabaggu baali batabani b’Omulangira
Musanje.
Ebiwandiiko ebimu biraga nti, Ssekabaka Namugala ye Kabaka wa Buganda eyasooka
okutikkirirwa ku kasozi Naggalabi era okuva olwo, eno n’efuuka enkola okutuuka
leero. Kyokka abalala balaga nti, ono ye yattukizaakalombolombo kano nga waliwo ne Bassekabaka abaali baasooka okutikkirirwa mu kifo ekyo.
Munnabyafaayo Kirwana Ssozi yagambye nti, Ssekabaka Namugala y’omu ku baana
b’Omulangira Golooba Musanje abasatu abaalya Obwakabaka era nga nnyabwe yali Nabulya Naluggwa ow’Endiga. Ssozi era yagambye nti, Ssekabaka Namugala ayogerwako ng’eyali talabika bulungi mu ndabika. Nti ono mu kugezaako
okulaga obuyinza bwe, yatandikawo enjogera egamba nti, “Kkonkome bbi ye nnannyini
Kigaji, atanjagala agende”. Bino byali bitegeeza nti, ne bw’aba mubi, ye yali Kabaka era ng’abantu balina okumuwulira era ng’oyo eyali atayagala amukulembere, yali asobola okunoonya ekibanja awalala. Ono Amasiro ge gali
Muyomba abamu we bayita Kitala.
YAFUNA OBUTAKKAANYA NE MUGANDA WE KYABAGGU
Ekitabo ‘Bassekabaka ba Buganda’ ekyawandiikibwa Sir. Apollo Kaggwa kiraga nti, nga
Ssekabaka Namugala ali ku ntebe ye alamula, muganda we Kyabaggu yamutuukirira n’amugamba nti, “Njagala okwate Ddibongo omutte kubanga yatta kitaffe Kabaka Mawanda”. Kyokka Kabaka Namugala yagaana okutta Ddibongo kubanga yali yatta naye omukago nga balina enkolagana ya maanyi.
Mu kugezaako okusanyusa muganda we, Ssekabaka Namugala yakwata abaali bakola ne Ddibongo n’abattira e Namasanga gye yali asenze ng’ava e Kitala.
Wabula newankubadde bano yabatta, naye Kyabaggu tekyamusanyula kubanga eyattira
ddala kitaabwe yali amulese mulamu. Ssekabaka Namugala bwe yakimanya nti, muganda we si musanyufu n’agamba nti, “Ndi mulwadde, kale mumpitire
muganda wange annumikeko”.
Bwe yamala okumulumika, Kabaka Namugala n’agamba Kyabaggu nti, “Oyagala kunzitira ki? Bulijjo ogenda ku basawo ng’oyagala onzite naye nze saagala kulwana naawe, ebyaffe biibyo mbikuwadde era nkulekedde Obwakabaka. Kale lya”. Eyo ye yali enkomerero y’obukulembeze bwa Ssekabaka Namugala. Kyokka ono ajjukirwako nga Kabaka eyali anyumirwa amasanyu, ng’ayagala okunywa omwenge kyokka nga wa kisa eri abantu. Nga tabatta era ne be yatta, yakikola kumpi ng’akakibwa
muganda we naye tekwali kwagala kwe.