Bannayuganda bawangudde emidaali mwenda mu misinde gy'abavubuka e Nigeria

ABADDUSI  Bannayuganda abaakiikirira eggwanga mu misinde gy'abavubuka mu kibuga Abeokuta ekya Nigeria baakukumbye emidaali 9 mu mizannyo egyenjawulo.

Abaddusi nga balaga emidaali gyabwe
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

ABADDUSI  Bannayuganda abaakiikirira eggwanga mu misinde gy'abavubuka mu kibuga Abeokuta ekya Nigeria baakukumbye emidaali 9 mu mizannyo egyenjawulo.

Abaddusi bano baayaniriziddwa abakungu bakakiiko kebyemizannyo mu ggwanga aka National council of sports abakulemdeddwa Joseph Oluga.

Uganda yakiikirirwa abavubuka 19 okwali abawala n'abalenzi abaagiwangulidde emidaali mwenda okuli egya zzaabu ena, ogwa feeza gumu n'egyekikomo ena.
Abaddusi abaawangudde emidaali e Naigeria

Abaddusi abaawangudde emidaali e Naigeria

Wabula abavubuka bano babakuutidde okukuuma empisa n'okusigala nga bakajuza okisobola okwetegekera empaka z'abavubuka ezigenda okubeera mu kibuga Darkar ekya Senegal.
 
Bentalin Yeko, cherop samuel, Nancy Chepkurui ne sunday Jacob beebawangulidde uganda emidaali egya zaabu ate nga Risper Cherop yawangudde gwa feeza.