OMUGAGGA Paul Kamaali yeeweze okutwala mutabani we ku ndagabutonde (DNA) okukakasa oba ddala y'amuzaala kuba bye yamutuusaako tayinza kukkiriza nti byava mu mwana wa ntumbwe ze.
Ono awanjagidde kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo emutaase ku mutabani amaliridde okusaanyawo obulamu bwe ng'ayagala waakiri emusindike e Luzira yeebake eyo nga bw'akolera Gavumenti ye awone ekibambulira ky'omwana.
Kamaali yatuuse n'okwoza ku mmunye ng'abuulira omulamuzi Adams Byarugaba bwe yabadde awa obujulizi ku mutabani we Bosco Nsegaimana gwe yagambye nti yatuuka n'okumuggyirayo ennyondo okumutta nga n'ekyamala eggobe mu kibya, lwe lunaku lwe yamukuba ensabaggere mu lujjudde lw'abantu mu kkooti n'akitegeera nti bulijjo yeeyolera 'Ngo' mu nnyumba.
Yategeezezza nti nga April 4, 2024 ku kyuma kye eky'obuwunga ekya Kabagambe e Nalukolongo, yalaba amawuuno mutabani we Nsegaimana bwe yamufuukira kye baawalula ng'amubuuza "Lwaki tofa ne tukuwona maama waffe n'afuna emirembe"?
Yagambye nti olwava ku bigambo ebyo, n'akwata ekigatto ekyali okumpi n'akimukasukira era kyakwata omukono ne guzimba. Kamaali agamba nti mutabani we ku olwo yali aswakidde ng'enswera enkubeko era nga mukambwe ng'asigaddeko kimu kumutaagula.
Abaali ku kyuma olwamugambako yavaawo kyokka yakomawo n'emmotoka ennene ekika kya Box body, yamugera ali awo mu kasiikirize, n'agezaako okugizza ekyennyumannyuma amulinnye ne bamusikawo ng'omwana ataamye okumumiza omusu.
Yagambye kkooti nti kino tekyamalira mwana, yakwata ennyondo n'agimugezaamu okumutta abakozi abaaliwo ne bamukwata. Kamaali anyumya nti mu kiseera ekyo, puleesa ne sukaali byattuka katono akutuke ku olwo.
Yaddukira ku Poliisi e Nateete n'ekwata Nsegaimana oluvannyuma n'awandiika ebbaluwa ng'amwetondera kyokka bwe yali ng'amusonyiye, ate bwe bajja mu kkooti ku by'okusiba nnyabwe n'amukubira eyo mu maaso g'omulamuzi.
Kamaali yakombye kw'ebaza eriibwa obutasonyiwa mutabani n'ategeeza nti yeetaaga n'okumukebera oba ddala y'amuzaala.
Yalaajanye nti omwana yamugoba ne mu maka ge e Kisugula n'awasizaamu omukazi nti "kale ggwe omwana gwe nasomesa ne mufunira n'omulimu ayinza atya okunsindiikiriza atyo, oweekitiibwa omulamuzi nkusaba lagira omwana oyo ave mu nju yange nange nsobole okwegazaanya ne mukyala wange omugole''.
Kkooti yalagidde enjuyi zombi okubeera abakakkamu obutaleetawo bukuubagano okutuusa ng'omusango guwedde n'agwongezaayo okutuusa nga August 20, 2025 lwe gunaddamu n'abajulizi abalala.