Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atuuse mu ssaza ly'e Kyaggwe gy'agenda Okulambula abalimi b'emmwaanyi mu nteekateeka eyitibwa Emmwaanyi Terimba.
Katikkiro Mayiga nga bamwaniriza e Kyaggwe
Ayaniriziddwa abantu bangi ku kkubo nga yakayingira Kyaggwe e Nakasajja, Kalagi n'obubaga obulala.
Abantu nga bafa essanyu okulaba ku Katikkiro
Agenda kutandika Okulambula omulimu Edward Kimuli e Ndeekwe mu ggombolola ye Nakifuma.