ABAVUBUKA 18 abagambibwa okwenyigira mu kubba abantu mu ngeri y'eggaali e Nsambya mu Kampala, bakwatiddwa mu kikwekweto ekimaze ennaku nga babayigga.
Obunyazi buno obwabaddewo nga July 17 mu kiseera ky'okunoonya obululu mu kamyufu ka NRM, bwalabikidde mu katambi akasaasaanidde emikutu egy'enjawulo, nga banyaga n'okutulugunya abantu emisana ttuku ku nguudo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire, ategeezezza nti abaakwatiddwa, babakuumira ku poliisi e Kabalagala ng'omuyiggo gw'abalala bwe gukolebwa.
Ayongeddeko nga beeyambisa CCTV Camera, abakugu, basobodde okwekenneenya feesi z'ababbi ne babakwata n'okuyigga abalala.