Akakiiko k’ebyokulonda kakyusizza ennaku z’okuwandiisa abanaavuganya ku Bwapulezidenti

AKAKIIKO k’ebyokulonda ak’eggwanga kakoze enkyukakyuka mu nnaku z’okuwandiisa n’okusunsula abanaavuganya ku ky’obukulembeze bw’eggwanga mu kulonda kwa 2026.

Byabakama ng’ayogera.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AKAKIIKO k’ebyokulonda ak’eggwanga kakoze enkyukakyuka mu nnaku z’okuwandiisa n’okusunsula abanaavuganya ku ky’obukulembeze bw’eggwanga mu kulonda kwa 2026.
Okusinziira ku pulogulaamu empya, ennaku zino zisembezeddwa okudda ku September 23 ne 24 September 2025 okuva olwa October 2 ne 3 nga bwe kyali kirambikiddwa. Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire, akulira akakiiko kano, Simon
Byabakama yategeezezza nti ekibawalirizza okukyusa kwe kuba nti baagala abaagala
okwesimbawo bafune obudde obumala okukung’aanya ebinaaba bibasabiddwa sso nga
nabo ng’abaakakiiko bakizudde nti beetaaga obudde obumala okweteekateeka
okukola ku bantu bano.
Abeegwanyiza eky’omukulembeze w’eggwanga oteekwa okukung’aanya emikono
egikusemba egitakka wansi wa 100 okuva mu disitulikitti ezitakka wansi wa 97 mu
ggwanga nga ne NIN nnamba z’abakusembye nazo zirina okuba nga zirambikiddwa
bulungi ddala.
Mu bbanga lino, era abanaasunsulwa ku Bwapulezidenti baakutuula bakkaanye engeri
gye banaatambuzaamu kampeyini kiyambeko okumalawo okusoomoozebwa kw’okukontana mu bifo omunaakuba kampeyini mu kiseera ekyo.
Enkyukakyuka zino era zaakuyamba abaakakiiko k’ebyokulonda okuteekateeka ‘sampo’ z’obululu obukubiddwako obulungi obufaananyi bw’abanaasunsulwa nga zino zaakuweerezebwa eri abanaakuba obululu.
Ku mulundi guno, abanaasunsulwa okuvuganya ku ky’obukulembeze bateekwa
okusooka okussa omukono ku ndagaano nga bawa obweyamo obw’okutambulira ku biragiro by’akakiiko. Abanaasunsulwa baakutandika kampeyini zaabwe okuva nga October 4 okutuuka nga January 12, 2026. Okuwandiisa n’okusunsula abaagala
eby’ababaka ba Palamenti kaakubeerawo nga September 16 ne 17, 2025, kampeyini zaabwe zive nga September 23, okutuusa January 12, 2026. Abanaavuganya ku bifo bya Gavumenti ez’ebitundu n’obukiiko obw’enjawulo okuli; abaliko obulemu, abakadde, abavubuka n’abakyala kuliwo okuva nga September
 3 okutuuka 12, kkampeyini zaabwe zitandike nga September 13 okutuusa nga January 12, 2026. Okulonda ku bifo byonna okuviira ddala ku kya Pulezidenti kuliwo okuva nga January 12 okutuusa nga February 9, 2026.