OMULAMUZI omupya ali mu mitambo gy’emisango gy'okujinga ebyapa egivunaanibwa bbulooka w'ettaka, Hajji Muhammad Kamoga awadde ebiragiro eri enjuyi zombi.
Edgar Tusiime Tibayeita, nga mulamuzi owa kkooti ento e Ntebe, yaweereddwa obuvunaanyizibwa bw'okuwozesa Kamoga emisango 8 egy'okujinga ebyapa oluvannyuma lw'omulamuzi agubaddemu Stella Maris Amabilis okuguvaamu.
Omulamuzi Tusiime yatandikidde ku kuwulira kusaba kwa Kamoga eyabadde ayagala kkooti eremese omuwaabi wa Gavumenti okwongera emisango emirala omunaana
egyekuusa ku kujingirira ebiwandiiko by'ettaka ku Kamoga.
Omulamuzi Tibayeita yagambye nti olw'okuba fayiro yaakagifuna, okuva ku mulamuzi Stella Amabilisi yasabyeyo obudde ayongere yeetegereze ensonga eno.
Bannamateeka ba Kamoga bakkiriziganyizza n'omulamuzi awe ensala ku misango emirala egyekuusa ku bufere bw’ettaka ku lwa August 18, 2025 kyokka abawaabi ne balaga obutali bumativu nti buli lwe bajja mu kkooti, Kamoga akola obuzannyo obukandaaliriza emisango.
Nga bayita mu bannamateeka baabwe, baasabye omulamuzi okuwulira emisango mu bwangu nga kkooti ensukkulumu bwe yalagira ng'egoba okusaba kwa Kamoga eyali
ayagala aleme kuwozesebwa mu kkooti y’e Ntebe.
Kamoga avunaanibwa omusuubuzi Peter Bibangamba ku ttaka erya yiika ezisoba mu 200 e Bukaya, Ntebe ng’amulumiriza okukozesa olukujjukujju okukyusa ebyapa byalyo lyonna n’abizza mu mannya ge