Eyali owa KCCA ayomba

EYALIKO omuzannyi wa KCCA, Nathan Mutenza nga kati atendeka ttiimu y’Esazalya Kigulu mu mipiira gy’Amasaza ga Busoga akiikidde ddiifiri ensingo okulamuza kyekubiira.

Mutenza
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Amasaza g’e Busoga
Butembe 0-0 Kigulu
Bukooli 0-2 Bugabula
Bunha 0-0 Buzaya
EYALIKO omuzannyi wa KCCA, Nathan Mutenza nga kati atendeka ttiimu y’Esaza
lya Kigulu mu mipiira gy’Amasaza ga Busoga akiikidde ddiifiri ensingo okulamuza kye
kubiira.
Kigulu yalemaganye ne Butembe 0-0 kyokka Mutenza yagambye nti ddiifiri yalabye ttiimu ye enyigiriza n’amala omupiira ng’obudde tebunnaggwayo. Yeegatiddwaako mutendesi munne, Isaac Kitakule owa Butembe eyagambye nti naye baamulamudde bubi nnyo era baddiifiri beetaaga kweddako. “Wadde twafunye akabonero, ddiifiri teyabadde ku mutindo era mmuvumirira nnyo,” Isaac Kitakule atendeka Butembe eyalemaganye ne Kigulu bwe yagambye.