Ebirina okukolebwa okutaasa ebbula n’obuseere bwa kasooli ku katale

NG’EKIRIME kya kasooli kikunukkiriza mu myezi etaano nga kiri ku buseere olw’ebbula lyakyo, omukugu alaze ebirina okukolebwa okukkakkanya embeera.Henry Musisi, ssentebe

Omulimi mu musili gwa kasooli ogwakoseddwa ekyeya.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

NG’EKIRIME kya kasooli kikunukkiriza mu myezi etaano nga kiri ku buseere olw’ebbula lyakyo, omukugu alaze ebirina okukolebwa okukkakkanya embeera.
Henry Musisi, ssentebe
w’akakiiko k’eggwanga ak’emmere ey’empeke aka Grain Council of Uganda, agamba nti, kasooli nga y’emu ku mmere esinga okuliibwa ku ggwanga, afunye okusoomoozebwa okw’amaanyi okusinga nga kuvudde ku nkyukakyuka ya
mbeera ya budde.
Agamba nti, Gavumenti yandyongedde okubunyisa ebyuma ebifukirira ebirime singa biba bikwatiddwa akasana kuba kino kye kimu ku bisinze okuvaako obuzibu mu bulimi bwa kasooli.
Uganda etutte ekiseera ng’eyimiriddewo ku kasooli okuva mu ggwanga lya Tanzania
nga kino kitegeeza nti, omulimi wa Uganda taganyuddwa mu miwendo gino egiri waggulu kuba agenze okutuuka mu 1,500/- ng’abasinga baggweesa ate nga
nabo bamwetaaga olw’obuwunga bw’emmere.
EBIRINA OKUKOLEBWA
l Musisi agamba nti, okufaananako n’e Tanzania, ekiseera kituuse Gavumenti eveeyo
edduukirire abalimi ng’eyita mu kubunyisa ebijimusa, ensigo ez’embala, eddagala eritta obuwuka n’ebintu ebirala ebyeyambisibwa  mu bulimi bwa kasooli.
l Okuteekawo ekkomo ku kasooli atundibwa wabweru w’eggwanga singa wabaawo
ebbula mu ggwanga.
l Okuteekawo okunoonyereza ku bungi n’ebbeeyi ya kasooli okwa buli lunaku okusalawo oba kyetaagisa okumutundako wabweru w’eggwanga.
l Okunoonyereza ku katale ka kasooli ku nsalo z’eggwanga ennene nga Busia okusobola okumanya obwetaavu bwa kasooli we buyimiridde. l Okunnyikiza omugaso gw’ebyagi okuyambako naddala mu biseera kasooli w’abeerera ow’ebbula ku katale. l Okukendeeza emisolo ku