PAASITA Wilson Bugembe, Queen Sheeba ne Karole Kasita bacamudde abayizi n’abasomesa ba Victoria University bwe babadde baggalawo omukolo gw’okuyingiza abayizi abapya.
Omukolo gwakulungudde ennaku ssatu okuva ku Lwokusatu nga July 16 okutuusa ku Lwokutaano nga July 19 ng’abayizi abeewandiisa mu lusoma lwa July bayisibwa mu mateeka ga yunivaasite, bye bagenda okusoma wamu n’okumanyisibwa ebikwata ku ttendekero lino byonna.
Sheeba Ne Dr. Lawrence Muganga.
Pasita Bugembe ye yasoose ku siteegi ku Lwokusatu n’akuba abayizi emiziki ne basiima ate ku Lwokuna, Karole Kasita naye n’abawa olwo Sheeba n’aggalawo ku Lwokutaano n’ennyimba ze ezitaleka mudigize waggulu.
Akulira Victoria University, Polof. Lawrence Muganga yasiimye abayizi abaalonze ettendekero ly’akulira mu malala gonna agali mu ggwanga n’abasiima olw’okusalawo okulungi kwe baakoze kubanga ebisomesebwa mu ttendekero lino, byebyo ebitambulira ddala n’omutindo ensi kw’etambulira.
Karole Kasita Ng'asanyusa Abayizi.
Yagumizza abazadde abaabawadde abaana nti bagenda kubakuuma mu ngeri esinga obulungi ate babangule ku mutindo ogutuukana n’ensi yonna nga kwe batadde n’okubasomesa essomo lya AI eritasomesebwa walala mu Uganda.