Basonze obukadde 73 ez'okuddaabiriza lutikko y'e Lubaga

Abantu ab’enjawulo bongedde okudduukirira omulimo gw’okuddaabiriza Lutitko, egenda okujaguza emyaka 100 ku nkomerero y’omwezi ogujja.

Ssaabasumba ng'akung'aanya ettoffaali
By Mathias Mazinga
Journalists @New Vision

Abantu ab’enjawulo bongedde okudduukirira omulimo gw’okuddaabiriza Lutitko, egenda okujaguza emyaka 100 ku nkomerero y’omwezi ogujja.

Ng’entereeza ey’okusonda ensimbi bw’eri, n’olunaku lwajjo (ku Lwokusatu nga September 10), abantu baakungaanidde mu kibangirizi kya Lutikko Ssabasumba n’abatikkula ‘etoffaalio.”

Nambi naye awaddeyo obukadde 3

Nambi naye awaddeyo obukadde 3

Mubaakiise kw’abaddeko Abasaserdooti b’essaza ekkulu ery’e Kampala, abeegattira mu kibiina kyabwe ekya Kampala Archdiocese Priests’ Association (KAPA), abaawaddeyo obukadde bw’ensimbi za Uganda 20.

Ensimbi endala zaatoneddwa ab’ebitongole by’essaza eby’enjawulo, omuli Abasamaria Abalungi abaawaddeyo akakadde 1, Abasomesa ba Katekisimu (sh3,300,000), Radio Maria (akakadde 1), Abavubuka (obukadde 4), Bassabafumbo b’essaza (sh8, 395,000), Abakyala Abakatoliki (obukadde 3), Abaami Abakatoliki (obukadde 2,820,000), Abayigisa n’ab’ebyokuyitibwa (akakadde 1), Ab’eby’amawulire mu ssaza (obukadde 2,377,000), ne Bassabakrist (obukadde 17).

Munnabyabufufuzi eyavuganyako kukifo ky’omubaka wa Paalamenti ekya Kawempe North, Hajjat Faridah Kigongo Nambi yawaddeyo obukadde 2.

Omukolo gwayongedde okufuna ebbugumu, bwegwegaattiddwako minista wa Kampala n’emiriraano, Hajjat Minsa Kabanda, eyawaddeyo obukadde 3, era n’asuubiza okwongera okuwaayo ssente endala, okuyamba kunteekateeka z’ekijaguzo.

Obukadde 73 zeezasondeddwa kukulamaga okw’omulundi guno.

Ssabasumba Paulo Ssemogerere y’asiimye nnyo abaatonye ssente olw’omutima omugazi gwebalina, n’olw’okwagala ennyo Klezia y’abwe. Yagambye nti engeri abantu gyebatonamu ewa essuubi nti omukolo w’egunaatukira, nga October 26, ebintu bingi bijja kuba bikoleddwa, ate nga nebinaaba tebiwedde, nabyo bijja kukolebwa oluvannyuma kubanga okujaguza kwamwaka mulamba.

Ssabasumba Paul Ssemogerere ng'asabira abantu omukisa

Ssabasumba Paul Ssemogerere ng'asabira abantu omukisa

Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka omukolo, Engineer Pius Mugalaasi, Omumyukawe Michael Ssebbowa Mukasa, ne Bwanamukulu wa Lutikko Fr. Achilles Mayanja, nabo omukolo baagwetabyeko.

Oluvannyuma abalamazi bonna baayise mumulyango gwa Lutikko omutukuvu, ate nebeetaba mu mmisa eyakulembeddwa Ssabasumba Paulo Ssemogerere.