Winfred Nakandi owa NUP alangiridde nga bwavudde mu lw'okaano lw'okuvuganya ku kifo ky'omubaka omukyala owa Kamqpala

WINFRED Nakandi  alangiridde nga bw'avudde mu lw'okaano lw'okuvuganya okukwatira ekibiina kya NUP bendera ku kifo ky'Omubaka omukyala owa Kampala n'ategeeza nga bw'akikoze ku lw'obulungi bw'abawagizibe.

Winfred Nakandi ng'ayogera ne bannamawulire
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

WINFRED Nakandi  alangiridde nga bw'avudde mu lw'okaano lw'okuvuganya okukwatira ekibiina kya NUP bendera ku kifo ky'Omubaka omukyala owa Kampala n'ategeeza nga bw'akikoze ku lw'obulungi bw'abawagizibe.
Nga asinziira mu lukungana lwabannamawulire lw'atuuzizza e Luzira, Nakandi ategeezezza nga bw'akyali omuwagizi w'ekibiina kya NUP kyokka nga simumativu n'ezimu ku nkola ezigenda mu maaso mu kibiina nga kino kye kimuwalirizza okuddako ebbali.

Nakandi n'abawagizi be

Nakandi n'abawagizi be


Yemulugunyizza ku ntekateeka y'akakiiko k'ebyokulonda mu kibiina nti kano kalina engeri gyekagabamu ebifo etategerekeka nga n'abamu baggyibwa mu bitundu ebirala ne bateekebwa ewalala nga kino kimaliriza kimaze mu bawagizi abamu essuubi ku bantu baabwe ab'omukitundu bebabadde bawagira.
''Enkola bw'ebeera nga nkyamu ebeera nkyamu wadde oba ogiganyuddwamu oba nedda''. Nakandi bw'ategezezza.
Ategeezezza nti oky'okuggyayo okusaba kwe okukwatira ekibiina kya NUP  bendera ku kifo ky'omubaka omukyala owa Kampala tekitegeeza nti olugendo lwe olw'ebyobufuzi lukomye n'agumya abawagizibe nti essaawa yonna ajja kubategeeza ekiddako.
Ategeezezza nga bwebalina okulwana okutuuka ku ssaawa esembayo n'ekigendererwa eky'okukakasa nti abantu bonna bafuna eddembe lyabwe.

Nakandi n'abawagizi be

Nakandi n'abawagizi be


Kyokka ategeezezza nga bwebakyayagala ekibiina kyabwe wabula nga tebaagala kabondo konna ak'abantu ab'olubatu okubeera nga bwbasalirawo ekibiina n'ategeeza nga ekibiina bwekiri ekinene okusinga abantu ssekinomu.
Akulira abakyala ba NUP mu Nakawa, Jovaline tumuhirwe ategezezza nga abakulu mu kibiina bwebalina okukwata obulungi ensonga zonna ezibasomooza era gikolebweko mu bwenkanya ewatali kunyigiriza muntu n'omu