PULEZIDENTI Museveni asiimye enkulaakulana Agha Khan gyeyaleeta mu Uganda eyambye ennyo okusitula obulamu bwa bantu.
'Ssebo omulangira Agha Khan nkusasira okufiirwako kitaawo, Omulangira Agha Khan eyali yakaava wano mu Uganda ebbanga si ddenne.
Ewaffe wano enkuba ebbadde erudde okutonnya naye kirabika essaala zaba Isimia z'amaanyi kubanga tubadde twagala enkuba naye bwe muzze n'etoonya
Museveni ng'ayogera
Museveni agambye nti bweyali muto e waabwe e Ntungamu balina amaduuka ana e Ntungamu nga gonna gabanzikkiriza ya Ismail nga batimba ebipandde mu maduuka okuli Kkwiini, omusajja omuyindi omukadde.
Mu 1967 bakyusa ekifaananyi ne bateekako ekifaananyi kya omugenze Agha Khan era nsiima aba ffamire ya Agha Khan okuteeka ssente mu nkulaakulana eyamba omuntu wa Bulijjo.
Pulezidenti Museveni ng'atuuka ku Agakhan