EKIKANGABWA kigudde e Kangulumira mu Bugerere, omuvubuka agambibwa okubaako ekikyamu ku mutwe, bw'atemyetemye abantu Mukaaga , bataano kubo n'abatta , naye abatuuze ne bamumiza omusu.
Abattiddwa batuuze b'e Kisega mu Ggombolola y'e Kangulumira , omuvubuka ateegerekeseeko nga Jowero mutabani wa Wabwire ow'e Nakatunda bw'abatemyetemye ebiso ekiro ne leero ku makya.
Abafudde, kuliko ategeerekese nga Bbosa n'omulala Kadogo ab'e Kisega era ng'emirambo gyabwe, gitwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Kayunga. Ye Kasujja ow'e Nakatunda, kigambibwa amutemyeko omukono n'atwalibwa mu ddwaaliro e Kangulumira gy'ali mu kujanjabibwa.
Poliisi etutte embwa, okuyigga omuvubuka ono n'abula nti kyokka leero ku makya, Jowero era afumbikirizza abaana abalala basatu, n'abatemaatema ebiso nabo n'abatta kyokka abatuuze ne beekolamu omulimu nebamukwata ne bamukuba naye ne bamutta nti era ne bagezaako okulumba ne nnyina naye bamumize omukka omusu, nti kyokka poliisi n'emutaasa.
Omu ku basirikale ba poliisi , atayagadde kwatuukiriza mannya, ategeezezza nti nti baasoose muluyombo ku malwa ku Itiba road e Kisega, nti kwe kugenda awaka n'akima ejjambiya n'abalumba n'atandika okubatemaatema