BAVUBUKA 29 abagambibwa okubeera mu ggaali ezirudde nga zitigomya abatuuze b'e Nansana ne Wakiso

ABAVUBUKA 29 abagambibwa okubeera mu ggaali ezirudde nga zitigomya abatuuze b'e Nansana , Wakiso n'ebitundu ebiriraanyewo, okubabba, bakwatiddwa.

BAVUBUKA 29 abagambibwa okubeera mu ggaali ezirudde nga zitigomya abatuuze b'e Nansana ne Wakiso
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

ABAVUBUKA 29 abagambibwa okubeera mu ggaali ezirudde nga zitigomya abatuuze b'e Nansana , Wakiso n'ebitundu ebiriraanyewo, okubabba, bakwatiddwa.

Abakwate bonna, bakuumirwa ku poliisi yomu Lubigi ku luguudo oluva e Kampala okudd e Hoima ng'okubasunsulamu, kugenda mu maaso.

Abamu ku bakwatiddwa, kuliko Jonathan Ssegawa, Julius Owino, Joseph Kalungi, Godwin Mwesigye, Carlos Sserunjogi, Jackson Kabuye, Rogers Wasswa, Benard Ojambo Dona Mawanda , Peter Lumu n'abalala.

Kigambibwa nti abakwatiddwa, babasanze n'enjaga, Mayirungi, b'ebintu ebirala era nga bino, byakuyambako okukola ng'obujulizi bwe banabeera, batwaliddwa mu kkooti.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, ategeezezza ebikwekweto eby'engeri eno, byakugenda mu maaso, okulwanyisa obumenyi bw'amateeka omuli n'eggaali.