WASHINGTON
OLULUMBA Yisirayiri lwe yakoze mu Qatar okutta abakulembeze b’oku ntikko ab’ekibinja ky’abalwanyi ba Palestine lukoleezezza oluyiira lw'olutalo mu kyondo kya Buwarabu.
Amawanga ga Bulaaya geegasse ku ga Buwarabu okuvumirira kye baayise ejjoogo ly’Abayudaaya.
Okumanya ng’oluyiira lukoledde, Pulezidenti wa America, Donald Trump akoze ekitatera okubaawo, bw’agugumbudde Yisirayiri mu lujjudde naddala Katikkiro waayo Benjamin Netanyahu olw’okuwakula olutalo ku nsi emanyiddwa okubeera ey’ekinywi ne America.
Bino biddiridde olulumba olw’obulabe Yisirayiri lwe yakoze ku Qatar, bwe yasitudde ennyonyi ennwaanyi ezisoba mu 10 ez’ekika kya F35 nga ziwangiddwaako mizayiro mutasubwa ne zirumba ekibuga Doha ekya Qatar ekyesudde mayiro ezisoba mu 2,000 ku Yisiriyiri.
Ennyonyi zino F-35 enkola ya America zaayise mu bwengula bwa Jordan ne Saudi Arabia, kyokka Yisirayiri teyasabye lukusa lw’amawanga ago. Ennyonyi ezo zaakozesezza tekinologiya w’ekika ekya waggulu ne ziyitamu mu bwengula nga teziketteddwa.
Ennyonyi zino ennwaanyi okulumba, ekitongole kya Yisirayiri ekikessi ekya Shin Bet kyabadde kikesse abamu ku bakulembeze b’abakambwe aba Hamas mu kafubo okukubaganya ebirowoozo ku biteeso bya America okukomya olutalo lw’e Gaza olugenda mu myaka kati ebiri okuva bwe lwatandika nga October 7, 2023.
Abapalestine abasoba mu 64,000 naddala abaana n’abakazi bwe baakafiira mu lutalo luno olwa bbomu Yisirayiri z'ebasuulako. Mu lulumba luno, Yisirayiri yakubye ekizimbe amaka g'aba Hamas mwe baabadde n’etta abantu 6 kyokka abakulembeze ab’oku ntikko ne basimattuka, ekyalese Netanyahu nga yeesooza.
Abattiddwa kuliko; Humam Al-Hayya (mutabani w’akulira Hamas), Jihad Labad, Abdallah Abdul Wahid, Moamen Hassouna, Ahmed Al-Mamluk ne munnamagye wa Gavumenti ya Qatar, Corporal Badr Saad Mohammed Al-Humaidi.
Katikkiro wa Qatar, Mohammed bin Abdulrahman bin Jassim bin Jaber Al Thani obulumbaganyi bwa Yisirayiri abuyise jjoogo na kamanyiiro n’agamba nti bo nga Qatar baakugenda mu maaso n’okukola buli ekisoboka okukomya olutalo lw’e Gaza
TRUMP ALIDDE OBUWUKA
Amawulire g’okulumbibwa kwa Qatar bwe gaasaasaanye, omwogezi w’amaka ga White, Karoline Claire Leavitt ye yasoose okuvaayo n’ategeeza nti Yisirayiri yakoze obulumbaganyi nga tesoose kutegeeza ku Trump era ekyo kikyamu nnyo kuba olulumba teruyamba America wadde Yisirayiri.
Trump naye oluvannyuma yatadde obubaka ku mukutu ogwe ogwa 'Truth Social', n’agugumbula Netanyahu olw’okukola olulumba ku Qatar, ensi gy’amanyi nti munywanyi nnyo wa America era Yisirayiri omwetaaga. Trump yagambye nti yategedde ku lulumba luno ng’ennyonyi zibuzaayo ddakiika budakiika okukuba enfo aba Hamas mwe baabadde.
“Olwategedde ne ndagira Qatar etegeezebwe era nakubidde Netanyahu ambuulire
Amagye gatandise okwekebejja ebisigalira bya Brig. Gen. Kabuye
ekyamukozesezza olulumba era n'oluvannyuma nakubidde omukulembeze wa Qatar, Emir Sheikh Tamim bin Hamad Al Thani ne mmwetondera ku byabaddewo.
YISIRAYIRI EKYAWERA
Wabula Benjamin Netanyahu akyawera nti Yisirayiri tegenda kulekera awo kuyigga ba Hamas n’abalabe baayo mu buli nsi yonna gye beekukumye. Minisita wa Yisirayiri, Israel Katz yagambye nti tebeetaaga lukusa lwa America lwonna ku nsonga eno era bajja kugenda mu maaso n'okuyigga abalabe baabwe.
Amawanga ag’enjawulo mu Bulaaya ne Buwarabu okuli; Australia, Bungereza, Saudi Arabia, Iran, Misiri, Japan, Kuwait, Iraq, Bufalansa, Pakistan, Lebanon, Syria, Spain, Yitale, Girimaani n’amalala gaavumiridde ekikolwa kya Yisirayiri
Eggye ly’omukago gwa Bulaaya likubye ennyonyi za Russia
EGGYE lw'omukago gwa Bulaaya erya NATO likubye ennyonyi za Russia ezaatyobodde obwengula bwa Poland nga ziri misoni ez'okukola obulumbaganyi ku Ukraine.
Obulumbaganyi buno bwabaddewo ku Lwokusatu ku makya ennyonyi za NATO bwe zaakubye ennyonyi za Russia ezaabadde mu bwengula oluvannyuma lw’okukola obulumbaganyi ku Ukraine.
Guno gwe mulundi ogusookedde ddala NATO okukola obulumbaganyi ku Russia bukya lutalo lubalukawo mu Ukraine.
Ennyonyi za Poland ne Budaaki zazingizza ennyonyi ennwaanyi ekika kya ‘Drone’ nga bayambibwako Yitale, Germany n’eggye ly’omukago gwa Bulaaya erya NATO.
Bwe yabadde ayogerako eri Palamenti ya Poland, Ssaabaminisita Donald Tusk yategeezezza nti wadde nga tewali nsonga yonna egamba nti Poland eri mu mbeera ya lutalo, yabaddewo okugisosonkereza okubadde kwaludde okubaawo okuva ku ssematalo owookubiri.
Yagambye nti eggwanga lyolekedde “Omulabe atakweka bigendererwa bye.” Tusk yalangiridde nti Poland yakozesezza ennyingo eyookuna eya NATO, ekitegeeza nti omukago gwa kutuula okubaganya ebirowoozo ku mbeera egenda mu maaso.
Minisitule ya Russia ey’ebyokwerinda yagambye nti yali esazeewo okwekalakaasiza ku Ukraine awatali kwang’anga Poland.
Kyokka akulira NATO, Mark Rutte agamba nti okuyingirira ensalo za Poland kyabadde tekisobola kubusibwa maaso.
Bwe yabuuziddwa bannamawulire oba okulumba kuno kwali mu bugenderevu, yagambye nti wadde kugenderere kyali kikolwa kya bulagajjavu era eky’obulabe.
Rutte yagambye nti okwanukula kw’omukago guno kwabadde kwa mugaso nnyo era n’alaga nti NATO esobola, era ejja kulwanirira “buli yinsi” y’ettaka lyayo