Engeri gy'osobola okufunamu akatale k'amagi

BIZINENSI y’enkoko z’amagi efunira mu kutunda magi. Kino kitegeeza nti, ggwe ayingira bizinensi eno olina okukakasa nti, olina akatale k’amagi osobole okukola amagoba.

Abakozi nga bapanga amagi mu ttule.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

BIZINENSI y’enkoko z’amagi efunira mu kutunda magi. Kino kitegeeza nti, ggwe ayingira bizinensi eno olina okukakasa nti, olina akatale k’amagi osobole okukola amagoba.
Olw’okuba ekyamaguzi mu bizinensi eno, gabeera magi y’ensonga olwaki olina okutandika okuteekateeka eky’ettunzi kyo nga bukyali okutandikira ku lulyo,
endabirira y’enkoko zikule bulungi olwo zibiike amagi agawera, endiisa ate n’okukuuma obuyonjo.
Wadde ng’abasinga tebakissaako mutima, bbeeyi y’amagin mu katale etambulira ku bunene,n buyonjo bwago, ensiba n’ebirala.

OKUFUNA AKATALE
l Ttule y’amagi etandikira ku 9,000/- okutuuka ku 11,000/- okutwaliza awamu, nga kino
kisinziira ku bunene bw’amagi.
Eno y’ensonga lwaki olina okwegendereza mu kulonda lulyo lw’ogenda okulunda kuba
amatono gatwalibwa okubeera ag’enkoko ezitandika okubiika, kyokka waliwo olulyo ng’amagi gaalwo gabeera matono mu ndabika wadde nga gabeera mangi mu muwendo.
l Kakasa nti, ebibiikiro n’ennyumba okutwaliza awamu bibeera biyonjo obutaddugaza
magi go kuba mu katale amagi amacaafu abasuubuzi bagagula nga ‘damage’ era gagenda kukuwa ebbeeyi eya wansi ddala okutuuka ne ku 8,000/-.
Bw’obeera oyagala okuy- 14 Bukedde Mmande July 21, 2025 onja amagi, togassaako kiwero ky’amazzi kuba amazzi gasobola okuyingira ekisosonkole n’okuziba obutuli eggi mwem lissiza ekironoona n’ofiirizibwa kuba tewabeera agagula. Wano funa oluwawu olukozesebwa mu kuwawula embaawo, ogende ng’oyisa mpolampola ku ggi awali kalimbwe oba ettaka okutuusa nga lirongoose.
l Wadde ng’abasuubuzi okwenonera amagi ku ffaamu kirabika nga kikuwewula ku
ssente z’entambula, kyandibadde kirungi okufuna ekifo w’ogassa ne baganona awo. Kino kitangira obulwadde obwandibadde bulumba enkoko zo nga busaasaanyizibwa
abagenyi, okutangira obubbi bw’amagi okutandikira ku bakozi ate n’obw’enkoko kuba
tomanya nneeyisa y’abasuubuzi n’abantu ssekinnoomu abajja okugula amagi.
Bw’obeera olina amagi mangi, kibeera kirungi ng’ofuna abasuubuzi era n’ozimba enkolagana ey’omuzinzi ng’amagi ne bwe gabeera mu kidibo oba nga gabuze buli omu abeererawo munne. Kino kigenda kukuyamba obutafiirizibwa ng’obeera n’akatale ekiseera kyonna.
l Ensiba y’amagi nayo esobola okukuyamba okufuna ebbeeyi ennungi. Wadde ng’abasinga bwe bagambibwa okugatta omuwendo ku magi basigala beebuuza kye
basobola okugakolamu. Singa ofuna obubookisi naddala obwa pulasitiiki atangaala nga bukoleddwa nga ttule z’amagi n’osibamu amagi 4-8, kisobola okukufunira akatale kuba wabeerawo abaagala amagi amatono nga kibanguyira okukwata akabookisi ako
n’agenda naddala mu butale nga supamaketi.
EBIKOLEBWA MU MAGI
Kyokka waliwo ebyuma eby’amaanyi ebisobola okukozesebwa okukola ebintu
eby’enjawulo mu magi nga bino bisobola okuyamba abalunzi b’enkoko ez’amagi naddala abeegasse mu kibiina okufuna ekiwera mu magi gaabwe.
Enkola eno mu mawanga ag’enjwulo ebaddewo kyokka mu Uganda yaakatuuka ng’amagi gakubwa ne gapakirwa mu ngeri ez’enjawulo olwo ne gakuumibwa
okumala akaseera naddala ng’ebbeeyi egudde olwo ne gatundibwa ng’erinnye.
Eggi lirina ebitundu eby’enjawulo nga buli kimu kisobola okussibwa kyokka
olwo ne kikozesebwa okusinziira ku muntu ky’ayagala okukola. Okugeza abagenda okufumba keeki, babeera baagala njuba, abagenda okukola ebizigo betaaga
mazzi, abagenda okukola emmere y’ensolo oba ekirungo ekigumya amagumba mu bantu
beetaaga kisosonkole.
Ekyuma kino kisobola okwawula ebitundu bino ne bisibwa mu budomola buli kimu kyokka mu bipimo eby’enjawulo okusobozesa abantu ab’ennyingiza ez’enjawulo okugula amagi gano.
Buli kitundu kya ggi kirimu ebirungo eby’enjawulo nga bino by’ebivaako n’abantu abamu okuyisibwa obubi nga balidde eggi lyonna singa abeera aliridde wabula singa alya ekitunduekitaliimu birungo ebyo asobola okulya eggi ate n’atayisibwa bubi.
Ekikulu mu kugatta omutindo ku magi, kukuuma mutindo gwa nkoko ezigenda okuvaamu amagi gano n’obuyonjo awakolerwa okwewala obuwuka obuyinza okugagwamu ne kigaviirako okwonooneka amangu. Kuno ossaako n’okufuna ebisosonkole ebisobola okukozesebwa mu
kukola ensaano etabulwa mu mmere y’ensolo n’abantu okubirya okufuna ekirungo kya Calcium ekigumya amagumba