Bazudde nnamba puleeti z'emmotoka 30 nga zikwekeddwa mu nsiko

ABATUUZE e Lubowa ku luguudo lw'e Ntebe, baliko nnamba plate z'emmotoka 30, ze bazudde nga zikwekeddwa mu nsiko

Bazudde nnamba puleeti z'emmotoka 30 nga zikwekeddwa mu nsiko
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Nnamba puleeti #Mmotoka #Kzuula #Batuuze

ABATUUZE e Lubowa ku luguudo lw'e Ntebe, baliko nnamba plate z'emmotoka 30, ze bazudde nga zikwekeddwa mu nsiko.

 

Nnamba puleeti zino ezibadde mu kakutiya , zizuuliddwa mu nnimiro ya lumonde e Sseguku zzooni 5 mu Makindye Ssaabagabo munisipaali y’e Wakiso.

 

Zonna zitwaliddwa ku poliisi e Lubowa, ng'okunoonya bannyini zo bwe kukolebwa, n'okuzuula baki abali amabega w'okuzikweka mu kifo ekyo.

 

Zino, kuliko UBN 438V, UBQ 052D, UBR 053E, UBP 072R, UBK 614Z, UBK 614W, UBK 472G, UBK 755C, UAR 708W, UAR 325A n'endala.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, ategeezezza nti baliko be baggyeeko sitatimenti era n'asaba abo, abayinza okuba nga baababbako ennamba zino okuva ku mmotoka zaabwe, okutuukirira poliisi e Lubowa , okubayambako mu kunoonyereza.