NARO ereese ekirungo ekitangira empumbu okulumba kasooli

GAVUMENTI etadde amaanyi mu kulwanyisa empumbu etera okulumba ebirime eby’empeke naddala kasooli, ebinyeebwa, omuwemba n’ebirala n’ekigendererwa eky’okulaban nga Uganda eyongera okufulumya emmere eyettanirwa ku ttale ka wano wamu n’ebweru w’eggwanga.

Dr. Moses Matovu owa NARO ng’alaga ekirungo kya ‘Aflasafe’.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

GAVUMENTI etadde amaanyi mu kulwanyisa empumbu etera okulumba ebirime eby’empeke naddala kasooli, ebinyeebwa, omuwemba n’ebirala n’ekigendererwa eky’okulaban nga Uganda eyongera okufulumya emmere eyettanirwa ku ttale ka wano wamu n’ebweru w’eggwanga.
Kino Gavumenti ekikoze ng’ewagira okunoonyereza okukolebwa abakugu okuva mu kitongole kyayo ekinoonyereza ku byobulimu n’obulunzi mu ggwanga ekya National Agricultural Research Organization (NARO) nga bano baaweebwa obuvunaanyizibwa okunoonyereza era n’okuzuulira ddala engeri entuufu abalimi gye balina
okwekwata okwewala empumbu mu kasooli.
Dr. Moses Matovu, okuva mu NARO era omu ku bali ku mulimu guno yagambye nti:
Empumbu mu mmere naddala kasooli ya bulabe eri obulamu bw’abantu nga kw’ossa n’ebisolo era nga yeetaaga okulwanyisibwa.
Eno y’ensonga lwaki Gavumenti yawa NARO obuvunaanyizibwa okunoonyereza era tuzuule enkola esobola okuyamba abalimi ne beewala empumbu eno eyatuusaako ne kasooli waffe ng’eggwanga okuboolebwa mu mawanga agatuliraanye. Mu kiseera kino tukoze ekirungo ekimanyiddwa nga ‘Aflasafe’ nga kino kikoleddwa okuva mu butonde era nga bwe kimansibwa mu nnimiro mu ngeri entuufu empumbu eba tejja kulumba makungula go.
Ekirungo kino kiri mu mpeke za muwemba ng’omulimi akimansa bumansa mu nnimiro
okufaananako ng’asiga obulo oba omuwemba nga bw’aba kasooli, okiteekamu ng’amaze okumukoola oba ng’atuuse mu maviivi.
Kyokka newankubadde ekirungo kino oba okitadde mu nnimiro, olina okukakasa
ng’ogoberera amateeka agalambikiddwa mu kukuuma omutindo gw’ebirime gamba ng’okukungulira mu kiseera ekituufu, obutakungulira mu ttaka, okwanika obulungi ebirime n’ebirala nga mu mbeera eno omutindo gw’emmere yaffe guba gujja kweyongera.
Mu ngeri y’emu era Gavumenti yateekawo ebyuma eby’omulembe ebyeyambisibwa
okukebera empumbu n’obutwa bw’eyinza okuba ng’eseera mu mmere, abalimi n’abasuubuzi bye basobola okweyambisa okukebera ebirime byabwe.