ABASERIKALE babiri balumiziddwa ne baweebwa ebitanda , oluvannyuma lw'abawagizi b'abeesimbyewo okubakuba.
Bino bibadde mu disitulikiti y'e Moyo, abawagizi gye baavudde mu mbeera wakati mu kwerya omuguju ,ne bakasukirira poliisi n'amagye amayinja, okukkakkana nga babiri, batuusiddwako ebisago eby'amaanyi.
PC Isaac Ogwang, ye yakubiddwa amayinja ku mutwe ne Pvt Christopher Canogura naye n'atuusibwako ebisago ku magulu era nga bombi bali mu kufuna obujjanjabi mu ddwaaliro ly'e Moyo.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu ekyo, Collins Asea avumiridde ekikolwa kino era n'agattako nti bali mu kunoonyereza okuzuula bonna abali emageba w'ebikolwa bino.