Abaawangudde kkaadi ya NRM e Nakaseke bawaga!

EBYOKWERINDA byanywezeddwa ku kitebe kya disitulikiti y’e Nakaseke wakati mu kubala obululu bwa kamyufu k’ekibiina kya NRM.

Abaawangudde kkaadi ya NRM e Nakaseke bawaga!
By Wasswa Ssentongo
Journalists @New Vision
#Amawulire #Nakaseke #Kkaadi

EBYOKWERINDA byanywezeddwa ku kitebe kya disitulikiti y’e Nakaseke wakati mu kubala obululu bwa kamyufu k’ekibiina kya NRM.

Kino kyavudde ku mbiranye ey’amaanyi eyabaddewo wakati w’omubaka wa Nakaseke North Alex Nyongole saako n’abadde amuvuganya ku kkaadi y’ekibiina kino Aheebwa Wilber nga gye byaggweeredde nga Aheebwa awangudde akamyufu kano.

Akulira Okulondesa Mu Kibiina Kya Nrm E Nakaseke Tandeka Paul Ng'asoma Abawangudde Kkaadi Y'ekibiina Kya Nrm.

Akulira Okulondesa Mu Kibiina Kya Nrm E Nakaseke Tandeka Paul Ng'asoma Abawangudde Kkaadi Y'ekibiina Kya Nrm.

Okubala obuluku kwatandise ssaawa 5:00 ez’ekiro olw’engeri obululu bwa Nakaseke Central ne Nakaseke South bwabadde butuuse wabula nga obululu okuva mu Nakaseke North bw’abadde tebunnaba kutuuka nga kino kyekyakeyeresezza okubala obululu buno.

Eyakuliddemu okubala obululu mu kibiina kya NRM mu disitulikiti ye Nakaseke Paul Tandeka yatandise okububala nga oluvanyuma ly’okukitegeera nti obululu obwabadde bubalindisa butuuse nga yatandise kusoma buli muluka nga kw’otadde ne ggombolola era oluvannyuma n’alangirira abawanguzi.

Mu kifo ky’omubaka omukazi owa Nakaseke omubaka aliko Sarah Najjuma yawangudde munne gw’abadde amuvuganya n’obululu 51193 ate eyamuddiridde Winnie Bukyana n’afuna obululu 2023.

Arthur Nkalubo Abadde Avuganya Ne Nsereko Eyeesowaoddeyo Okuvuganya Ku Bwanamunigina.

Arthur Nkalubo Abadde Avuganya Ne Nsereko Eyeesowaoddeyo Okuvuganya Ku Bwanamunigina.

Mu kifo ky’omubaka owa Nakaseke Centre Minisita Kyoffatogabye Kabuye yawangudde n’obululu 13873 nga ye munne Sophie Janet yafunye 2210.

Mu kifo kya Nakaseke South Kawuma Charles Basajjasubi yawangudde n’obululu 26156 nga munne gw’abadde avuganya naye Athur Nkalubo yafunye obululu 1,247.

Wabula oluvannyuma ly’okulangirira akalulu kano abamu ku bannakibiina okuli Arthur Nkalubo teyamatidde na byavudde mu kulonda n’agamba nti agenda kwesimbawo ku bwannamunigina era n’asaba abawagizi okumuyiira obululu.

Sarah Najjuma Ku Kkono Ne Charles Nsereko Basajjasubi Ku Ddyo Nga Bawaga Oluvannyuma Ly'okufuna Kkaadi Y'ekibiina Ku Bifo Bye Babadde Bavuganyaako.

Sarah Najjuma Ku Kkono Ne Charles Nsereko Basajjasubi Ku Ddyo Nga Bawaga Oluvannyuma Ly'okufuna Kkaadi Y'ekibiina Ku Bifo Bye Babadde Bavuganyaako.