Abazigu 6 ababadde batambulira ku pikipiki nga balina amajambiya, bazinze edduuka lya Fort bet ne banyaga ssente amasimu n'ebintu ebirala.
Bataayizza abantu ababaddemu ne babasiba emiguwa, okuli n'abakozi n'abaserikale, oluvannyuma ne banyaga ne babulawo.
Obulumbaganyi buno, bubaddewo ku ssaawa nga 6:00 ogw’ekiro e Busembatya zone 4 ku Busembatya Fortbet mu disitulikiti y'e Bugweri, abazigu nga bambadde obukookoolo, bwe basibye omukuumi Paul Namunye owa Corporate Security company emiguwa n'abantu abalala, ne babba obukadde 2 n'ekitundu, amasimu ne kalonda omulala.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kafayo, agambye nti baddukidde ku pikipiki bbiri era babayigga.