masaza ga Buganda
Kabula 0-0 Mawogola
Ssese 2-1 Busiro
Kyaddondo 1-2 Buweekula
Kyaggwe 1–1 Butambala
Ssingo 3–0 Kkooki
Buddu 1–1 Busujju
Gomba 0–0 Buluuli
Bulemeezi 1–0 Buvuma
Bugerere 1–0 Mawokota
OBUNKENKE bweyongedde ku mutendesi wa Kyaddondo, Meddie Nyanzi oluvannyuma lwa ttiimu eno okukubwa Buweekula (1-0) ku Lwomukaaga e Nakivubo.
Gwabadde mupiira gwakubiri ku 4 nga Kyaddondo ekubwa nga baasooka kukubwa
Buvuma (1-0). Emipiira emirala 2 Kyaddondo erinako wiini ya Bulemeezi (1-0) n’amaliri ga (1-1) ku Bugerere.
Omupiira gwa Buweekula nga guwedde, abawagizi beekalakaasizza nga bagamba
nti Nyanzi omulimu gumulemye. Baakanze kulinda Nyanzi okufuluma ekisaawe abannyonnyole n’atalabikako okutuusa lwe baayabuse.
Beemulugunyizza ne ku kyokukyaliza e Nakivubo gye bazannyira ng’ate si
gye batendekerwa.
MAWOKOTA ERUGUDDEMU
Mawokota eyabadde tennakubwamu, eggulo yakubiddwa Bugerere (1-0). Mu ngeri y’emu,bakyampiyoni aba Buddu baawonedde watono okukubwa Busujju. Baalemaganye (1-1) mu gwabaddde e Masaka. Simon Dunga eyagobeddwa e Gomba nga bigaanyi, bwe yagenze e Bulemeezi yatandise ne wiini. Baakubye Buvuma (1-0).