Bagenze Denmark

AKADEMI ya Prostat bataka e Denmark gye baagenze okuvugannyiza mu mitendera gy’enjawulo mu Dana Cup. Akademi eno ekulirwa Richard Mugerwa yasituddeLwamukaaga e Wampeewo.

om Muwonge ku (ddyo) ng’asimbula aba Prostat e Wampeewo ku Lwomukaaga.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AKADEMI ya Prostat bataka e Denmark gye baagenze okuvugannyiza mu mitendera gy’enjawulo mu Dana Cup. Akademi eno ekulirwa Richard Mugerwa yasitudde
Lwamukaaga e Wampeewo.
Yasoose Girimaani gye yavudde ku Ssande ku makya. Egenda kuttunka ne ttiimu okuva e Brazil, Bungereza, Bufalansa, Nigeria, South Africa, Cameroon ne Denmark abategesi. Mugerwa yagambye nti alina essuubi ddene abazannyi bano okukiikirira obulungi
eggwanga era asuubira okudda n’emipiira naddala mu bazannyi abali wansi w’emyaka 8 ne 10.
“Tukedde okugenda nga twagala tumanyiire bulungi Denmar n’abazannyi basooke bawummule bulungi tulyoke tulage Abazungu ttaaci,” Mugerwa bwe yategeezezza.
kapiteeni wa ttiimu eno, Prince Jjunju eyasuubizza ebikopo.
Baasiibuddwa Meeya wa Kasangati Town Council, Tom Muwonge eyasabye abazannyi okweyambisa omukisa guno okwolesa ekitone obulungi