MMENGO eyanirizza ensala ya kkooti omulamuzi gye yawadde ng’ayimiriza ebiragiro bya minisita omubeezi ow’Ebyettaka, Dr. Sam Mayanja bye yawa ku ttaka ly’e Kaazi.
Bino biddiridde ensala y’omulamuzi wa kkooti ewozesa emisango gy’engassi, Bonny Isaac Teko gye yawadde nga July 18, 2025 n’ayimiriza abantu bonna okusaalimbira ku ttaka lya Kabaka ery’e Kaazi erisangibwa ku Block 273 Plot 5.
Minisita w’ebyettaka n’ebizimbe e Mmengo, Daudi Mpanga mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe yatuusizza mu Bulange ku Lwokutaano ng’ali ne bannamateeka ba Buganda Land Board
(BLB), abaakulembeddwaamu Denis Bugaya, yagambye nti Mmengo ejja kulwana okukuuka ejjembe okulaba ng’ ettaka lya Ssaabasajja Kabaka likuumibwa butiribiri
n’ayaniriza ensala y’omulamuzi Teko. Yagambye nti ettaka ly’e Kaazi liweza yiika 120 era limu ku mayiro za Kabaka 350.
Ensala y’omulamuzi Teko eddiridde omusango, Kabaka n’ekitongole kya BLB gwe
baawawaabira minisita Mayanja, Ssaabawolereza wa Uganda n’omuyambi wa Pulezidenti Phiona Birungi olw’okusaalimbira n’okuwa ebiragiro ebimenya amateeka ku ttaka kya Kabaka erisangibwa e Kaazi ku Kyaddond ku Block 27 Plot 5.
Mu musango guno, Kabaka ne BLB baasaba kkooti eyimitize ebiragiro 16 okuli okwagala ekyapa ekiri ku block 273 Plot 5 okutudde yiika 120, kisazibwemu, kitongole ekivunaanyizibwa ku ttaka ly’Obwakabaka kiggyibwewo nti tekiri mu mateeka, okugaana obukuumi obwali buteereddwaawo Obwakabaka ku ttaka lino wassibwewo
obulala n’ebirala.
Mayanja era yalagira kamisona w’ebyapa okukolayo ekyapa kya yiika 20 nga kya Mulangira George Mawanda n’okulagira abawandiisi ab’enkalakkalira mu minisitule okuli ey’Ebyensimbi n’Ebyettaka obutakola ku nsonga za kuliyirira Buganda ku ttaka ly’e Kigo. Ebiragiro bino Mayanja yabiwa nga March 6, 2025 ne Phiona Barungi nga basinziira e Kaazi kyokka nga mu kugendayo, Obwakabaka tebwategeezebwako
era Mayanja teyalina kw’asinziira.
Minisita Mpanga yasabye ebitongole ebikuumaddembe ssaako n’abakwasisa amateeka okuteeka ekiragiro kya kkooti kino mu nkola era ne yeebaza essiga eddamuzi olw’okuwulira amangu okusaba kwabwe kuno.
Mpanga yalambuludde nti mu mateeka ga Uganda, ensonga bw’eweebwako ensala emirundi ebiri nga gyonna gikakasa ekintu kye kimu, eba tekyadda mu kkooti. Mu misango okuli ogwawaabwa omulangira Henry Kalemeera n’ogwawaabwa Omumbejja
eyeggala, kkooti yaggumizza obwannannyini bwa Kabaka ku taka lino era Mpanga yeewuunya bannakigwanyizi okusigala nga batyoboola ensala ya kkooti