KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abantu okwagala nnyo ebika byabwe okufananako omugenzi eyaliko Sipiika wa Buganda Nelson Kawalya bweyakola.
Mayiga okwogera bino asinzidde ku mukolo gw'okwabya olumbe lw'omugenzi Kawalya mu Maka ge e Lubaga Mu Kampala n'asaba abasika okutambulira mu buufu bwa Kabaka, bamwagale nga bwebawereza ekika kyaabwe.
"Mbakubiriza okutambulira mu buufu bwa Kabaka ate muwereeze ekika ng'omugenzi Kawalya bweyakola.
Omusika ng'ayogera
Simanyiyo muntu ayagala Kika kye nga Kawalya bweyakola; yakiwagiranga mu bigambo ne mu bikolwa," Mayiga bweyasabye.
Katikkiro Mayiga yasabye abakulira ekika ky'enseneene okulaba ng'Omukulu w'ekika agunjulwa bulungi n'okusomesebwa, ebintu omugenzi byeyali afubako.
Ku lw'Olulyo Olulangira, Nnaalinya Sarah Kagere nga ye mukulu wa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ayogedde ku mugenzi ng'eyali omuntu omukozi ate akolagana na buli muntu era n'awereeza Obuganda obuteebalira.
Henry Kawalya yeyasumikiddwa okusikira Kitaawe nga Elliana Nansikombi ye Lubuga we. Omusika yeyamye okutambulira ku bweruufu, obumu ate n'empisa okusobola okukuumira erinnya lya mukadde waabwe waggulu gyeyalireka.
Omukolo guno gubaddemu okusabira abasika okukulembeddwamu Omulabirizi we Namirembe, Moses Banja eyeebazizza Nnamwandu Annet Kawalya olwokusobozesa bba ng'akyali Mulamu okuwereeza Ekanisa, Obwakabaka, Lotale n'ebitongole ebirala wakati mu kwekwata ku Katonda.
Ye Nnamwandu Annet Kawalya yeebazizza bonna abasobodde okujja okubeerawo ku mukolo guno ate n'abaana olwokumulabirira obulungi bukya Munne amuvaako mu Desemba wa 2024.
Omusika ng'asuumikibwa
Omukulu w'ekika ky'enseneene, Omutaka Kalibbala George Nsozi asabye bazzukkulu be okulabira ku mugenzi Kawalya, bawereeze obuteebalira ekika kyaabwe n'eggwanga era neyeebaza bonna abazze ku mukolo guno.
Omukolo gwetabiddwako Omumyuka owookubiri owa Katikkiro Robert Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda Patrick Mugumbule n'Omumyuka we Hajj Ahmed Lwasa, Bakatikkiro ba Buganda abaawummula Dan Muliika ne Ying. JB Walusimbi.
Namasole Damalie Nantongo Muganzi , Ssabaganzi Emmanuel Ssekitoleko.
Bannaddiini kubaddeko Abalabirizi abaawummula okuli Henry Katumba Tamale owa West Buganda, George Ssinabulya owa Central Buganda ne Dr. Dunstan Copliano Bukenya owa Mityana n'abalala.