NIRA etandise okugolola ensobi ezaakolebwa ku ndagamuntu

Bweba ensobi nga yali yiyo ggwe nannyini ndagamuntu, olina okusasula ssente okugitereeza, kyokka bw'eba nga yakolebwa kitongole ekyo, bagitereereza bwereere.

NIRA etandise okugolola ensobi ezaakolebwa ku ndagamuntu
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#NIRA #National ID #Ndagamuntu

AB'EKITONGOLE NIRA batandise kaweefube w'okukyusa endagamuntu ku nsobi ezaazikolebwako.

Bweba ensobi nga yali yiyo ggwe nannyini ndagamuntu, olina okusasula ssente okugitereeza, kyokka bw'eba nga yakolebwa kitongole ekyo, bagitereereza bwereere.

Registrar akulira eby'endagamuntu mu kitongole kino, Clarie Ollama, agambye nti omulimu guno, gugenda kuba gukolebwa ku disitulikiti.

Agasseeko nga bwe batandiseewo engombo, egamba nti ' Am NIN-ED , IAM UGANDAN' ng'omu ku kaweefube w'okunnyikiza omugaso gwa NIN eri bannayuganda.