OMUVUBUKA ow'emyaka 27 agambibwa okwekwata akatambi n'akasindika ku tiktok ng'alabula ab'ekitongole ky'amasannyalaze ekya UEDCL nga bw'alina obukugu obubba amasannyalaze, akwatiddwa.
(Akatambi akaasaasanidde emikutu nga Kasule yeewaana okubba amasannyalaze)
Braiton Kasule y'agambibwa okwekwata akatambi nga June 12 n'akasaasaanya ku mikutu ng'abalabula okwewala okubasalako amasannyalaze nti bwe banaakikola, baakweyambisa obukodyo obugabba nate.
Omu ku bakungu mu kitongole kino ekya ERA Ibrahim Kasiita, ategeezezza nti omusajja ono, bamukwasizza poliisi era nga bamuguddeko emisango egy'enjawulo.
Kitegeezeddwa nti Kasule mutuuze w'e Busega mu Kampala. Kasiita alabudde abo bonna ababbirira amasannyalaze, okukyewala.