KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asibiridde abazadde entanda erimu obuvunanyizibwa bwebalina eri abaana baabwe bwebabeera baakugunjulira eggwanga abatuuze Abalungi.
Entanda eno agisibiridde abazadde ku mukolo aba Verona High School e Kisigula- Mutundwe mu Munisipaali ya Makindye Ssabagabo kwerijjaguliza emyaka 10 bukya litandika n'agamba abazadde balina okutuukiriza obuvunanyizibwa buno awatali kwekwasa wadde okubukwasa omuntu omulala.
Mayiga ng'aggulawo ekizimbe
Katikkiro Mayiga era mu kifo kino yagguddewo ekizimbe ekibbuddwamu erinnya lye nga kituumiddwa Charles Peter Mayiga Block neyeebaza abakulira Essomero lino olw'ekitiibwa kyebamuwadde n'asaba abayizi abagenda okukisomeramu okutwala eby'enjigiriza ng'ekikulu.
" Nneebaza abakulira Essomero lino olw'okunzibulamu ekizimbe. Nsaba abayizi abagenda okusomera mu kizimbe kino okumanya nti gwebakibuddemu takola bintu nebikoma mu kkubo n'olwekyo namwe mulina okumaliriza emisomo," Mayiga bweyayongeddeko. Minisita w'enkulakulana y'abantu mu Buganda, Coltilda Nakate Kikomeko alaze obwenyamivu olw'okuba nti omuwendo gw'abaana abava mu Massomero gukyali mungi mu Buganda ekintu kyagambye nti tekigenda kuyamba kukulakulanya Buganda bwatyo neyeebaza Abatandiisi b'amassomero olw'okuyambako okukendeeza ku muwendo gw'abaana abatasoma.
Katikkiro ng'asimba omuti
Omwami w'essaza ly'e Kyadondo, Kaggo Hajj Ahmed Matovu Magandaazi asabye abayizi bano bulijjo okutwala obubaka bwa Katikkiro nga bukulu kubanga naye yazaalibwa era n'akuzibwa nga bbo bwebali n'olwekyo nga balina obusobozi okuyitimuka mu nsi.
Omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze mu Makindye Ssabagabo abaakulembeddwamu Omwami w'eggombolola Matia Mayiga, Eyaliko Omubaka wa Palamenti Emmanuel Ssempala Kigozi Ssajjalyabeene n'abalala