POLIISI y'e Nakasongola ekutte eyali omukozi mu faamu eri ku kyalo Kyanigita mu ggombolola y'e Nabiswera mu Nakasongola eyasazeeko omutwe munne bwe baali bakola n'akuuliita nagwo agutunde e Kampala.
John Isoke ye yakwatiddwa lubowa n'omutwe gwa Herbert Ameir (26) gwe yabadde atadde mu kiveera ng'abulawo nagwo.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti okukwata Isoke kyaddiridde nnanyini faamu eno Cetty Namugga okumulaba ng'afubutukayo ku lw'okubiri ku makya.
Namugga eyabadde aliko abakozi baakeezezza mu faamu yagudde ku kiwuduwudu ne yeekengera gwe yalabye ava mu kifo kino ne bamuwondera bwe yabalabye n'akakasuka ekiveera munsiko n'agezaako okudduka kyokka ne bamutaayiza ne bamukwata.
Baayazizza gye yasudde akaveera nebbakataganjula ne basangamu omutwe gw'omuntu ne bamutwala ku poliisi e Migyera abitebye.
Isoke kigambibwa yakkirizza nga bwe yasazeeko omuntu ono omutwe n'ategeeza poliisi nti yabadde agutwala kugutunda mu Kisenyi e Kampala.
Twineamazima ategeezezza nti Isoke akuumirwa ku poliisi e Nakasongola n'ebizibiti bye yakozesezza okusalako omuntu omutwe ssonga omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika e Nakasongola Health Center IV gwekebejjebwe.
Kigambibwa faamu eno yeesudde nnyo ekitundu ekyayambye omutemu okukola' byonna nga teri addukirira.
Omugenzi abadde asula yekka munsiisira mwe baamusanze okumutta nga yabadde ebunye omusaayi ssonga ekiwuduwudu baakiwazeewaze ne bakitwala miita eziwera 15 nga wano we waasangiddwa ejjambiya eyabadde ejjudde omusaayi egambibwa okukozesebwa mu ttemu