Minisita ayogedde ku nsala ya kkooti ku ttaka ly’e Kaazi

MINISITA omubeezi ow’ensonga z’ettaka, Dr. Sam Mayanja ayogedde ku nsala kkooti gye yawadde ku ttaka ly’e Kaazi ng’eyimiriza abantu bonna okulisaalimbirako. Kiddiridde omulamuzi wa kkooti ewozesa emisango gy’engassi,

Minisita Mayanja
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MINISITA omubeezi ow’ensonga z’ettaka, Dr. Sam Mayanja ayogedde ku nsala kkooti gye yawadde ku ttaka ly’e Kaazi ng’eyimiriza abantu bonna okulisaalimbirako. Kiddiridde omulamuzi wa kkooti ewozesa emisango gy’engassi,
Bonny Isaac Teko okuwa ebiragiro nga July 18, 2025 ekiyimiriza abantu bonna okusaalimbira ku ttaka lya Kabaka ery’e Kaazi erisangibwa ku Block 273 Plot 5.  Mayanja yasinzidde mu pulogulaamu ya Mugobansonga ebeera ku Bukedde FM buli Ssande ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi ne yeewuunya ekiragiro kya kkooti.
Yeewuunyizza obwangu obwakozeseddwa n’agamba nti omusango gwonna n’okusalibwa byakoleddwa mu nnaku nga musanvu zokka. Ekisooka abantu
abaawawaabirwa okuli ye minisita, omuyambi wa Pulezidenti, Phiona Barungi, Ssaabawolereza wa Gavumenti ne ffamire ya Daudi Chwa abamu tebaategeezebwa.
“Waliwo omukulu eyang’amba mu lugambo nti bampawaabidde, bwe nneebuuza ku Barungi nga tamanyi wadde ffamire ya Chwa.
Ssaabawolereza wa Gavumenti ye mbu yabaddewo era n’akkiriza awamu ne looya eyavudde mu minisitule y’Ebyettaka gwe baayise mu bwangu,” Mayanja bw’agamba. Minisita agamba yawandiikidde omulamuzi ebbaluwa ng’amusaba asooke ayimirize kuba yabadde tannafuna bbaluwa emuyita nga omu ku bavunaanibwa. Kyokka omulamuzi kye yakoze kwe kudda mu kkooti n’amuvuma nga bw’agamba nti tayinza kugendera ku biragiro bye kuba si y’amufuga. Oluvannyuma lw’okuwa ensala nga tategeezeddwa, yasazeewo okuteekamu okwemulugunya kwe mu butongole osanga lw’anaawulirwa.
Mayanja agamba ebiragiro bye yali awadde okuli; okusazaamuekyapa ekiri ku block 273 plot 5 okutudde yiika 120, ekitongole ekivunaanyizibwa ku ttaka lya Kabaka kiggyibwewo, okugaana obukuumi obwali buteereddwaawo Obwakabaka ku ttaka lino wassibwewo obulala n’ebirala.
Ettaka ly’e Kaazi liweza yiika 120 era limu ku mayiro za Kabaka 350 nga Kabaka ne Buganda Land Board be baasaba kkooti eyimirize ebiragiro bya minisita Mayanja
ekintu ekyakkiriziddwa.
Minisita agamba ebiragiro bye yawa byagenderera okugonjoola ebizibu ebisinga eby’ettaka ebiri mu Buganda kuba ettaka lya Ssekabaka Daudi Chwa liwerako mailo 250. Olw’okuba nga mu kiseera kino abaana ba Chwa bonna baafa, kye yava yalagira abazzukulu balonde abaliddukanya.
Yagambye nti ekibiina ekigatta abasikawutu aba Uganda Scouts Limited nabo babadde bafuna ssente mu bukyamu okuva mu Gavumenti kuba baagifuula kkampuni y’abantu b’olubatu kwe baliira ssente mu bukyamu.
Kino kye kyamuwaliriza okulagira ekitongole ekivunaanyizibwa okuwandiisa ebitongole ekya Uganda Registration Services Bureau okuwanduukulula ekitongole ekyo.
“Abantu balina okukimanya nti ettaka ly’e Kaazi saalagira liteekebwe mu mannya gange
nga omuntu, wabula nalagira lidde mu mikono gy’abantu abatuufu kuba bwe
bwenkanya,” bwe yagambye. Mayanja era yagambye nti wadde
Ssaabawolereza wa Gavumenti y’avunaanyizibwa okuwolereza Gavumenti, kyokka
Elizabeth Nakayiza:
Akatale kaaliko amasannyalaze ga sola naye tetulabanga bwe gayaka buli nzikiza lw’ebaawo tetusobola kukola. Teddy Leticia Nabulya: Waliwo entalo z’omu
butale ku bantu bwe tweriraanye era nazifunyeemu olubale. Tusaba wassibwewo obukiiko bw’empisa. Frank Tumwebaze: Twagala bakole ku by’amasannyalaze kuba enzikiza etuyisa bubi ate kiwa abamenyi b’amateeka ekyanya okweyongera.
Vincent Kafeero: Kyewuunyisa nti ebintu ebitundibwa mu katale, n’abalina amaduuka  ’engoye babitunda olwo naffe ne tusoberwa.
Kye bagamba alina kukikola we bamusabye kuba si ye mumanyi w’amateeka asingayo